TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abapoliisi abaafiiridde mu kabenje baziikiddwa mu biwoobwe n'okwazirana

Abapoliisi abaafiiridde mu kabenje baziikiddwa mu biwoobwe n'okwazirana

Added 3rd July 2020

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli mu kusabira omulambo gw’omu ku baserikale abafiiridde mu kabenje ku Lwokuna.

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abaserikale babiri ababadde bakolera ku kitebe kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango ekibuli mu ofiisi ekola ku misango egyabulijjo (General Crime), AIP Emmanuel Mawa ne Sgt. Dick Magala, baafiiriddewo mbulaga n'omusibe gwe baabadde batwala, Phillip Wadambwa gwe baabadde bava okukima mu disitulikiti y'e Manafwa.

Akabenje mwe baafiiridde, kaaguddewo ku Lwokuna ku ssaawa nga 11 ez'okumakya e Magamaga ku luguudo oluva e Iganga okudda e Jinja mmotoka mwe baabadde batambulira kika kya Toyota Premio UBF 837K bwe yatomeraganye bwenyi ne lukululana ya Kenya kika kya Foton nnamba KCQ 638C / ZC 738. Akabenje kano kaatwaliddemu ne kabangali ya poliisi UP 7483.

Abaserikale basatu, D/AIP Mawa, D/Sgt. Magala ne D/Sgt. Martin Onguti, baasimbudde e Kampala ku Mmande ne bagenda mu disitulikiti y'e Manafwa okukima Wadambwa aleetebwe e Kampala ffayiro y'emisango egimuvunaanibwa gye yabadde era ne bamuteeka ku mpingu okumuleeta e Kampala.

Omwogezi w'ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango, Charles Mansio Twine yagambye nti, Wadambwa yabadde ku misango gya kutiisatiisa kutuusa bulabe ku muntu wabula bwe baabadde bakomawo ne bagwa ku kabenje. Onguti yekka ye yasimattuse ku baabadde mu mmotoka.

Magala, aziikiddwa leero mu disitulikiti y'e Luuka mu Busoga. Ono yabadde musiraamu ng'eddiini ye, tekkiriza mulambo ate Mawa, wakuziikibwa enkya Lwamukaaga ku kyalo Arabai mu Municipaali y'e Soroti.

Basoose kumusabira ku kitebe kya poliisi e Kibuli nga kuno, kwakulembeddwa Rev. James Luwumu ow'ekkanisa ya St. Steven e Kibuli.

Amyuka direkita w'ekitongole Mawa mw'abadde akolera, Elly Womanya yamwogeddeko ng'omusajja abadde omumalirivu ate omwesimbu ng'asomesezza abantu bangi omuli ne bakama be enkola y'emirimu gya poliisi.

Yalesse abaana babiri n'omukyala, Patience Kyomugisha wabula ono okufa kwa bba, kwamusanze yagenda ku kyeyo e Saudi Arabia.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekandi nga y'akamala okwewandiisa.

Abavuganya Ssekandi baagala...

ABAVUGANYA omumyuka wa Pulezidenti bamutaddeko amaanyi okumusuuza ekifo ky’omubaka wa Palamenti e Masaka. Kigambibwa...

Akatale k'e Wandegeya nga bwe kafaanana.

Abasuubuzi b'e Wandegeya be...

ABASUUBUZI mu katale k’e Wandegeya bagambye nga bwe bagudde mu lukwe lwa ssentebe waabwe, Jonathan Gitta okwagala...

Aba Lufula baagala Amongi a...

ABATEMI b'ennyama mu lufula ya City Abattoir mu Kampala basabye Minisita wa Kampala, Betty Amongi ateekewo akakiiko...

Omuwandiisi wa kkooti, Sarah Langa Siu.

Etteeka lya siriimu likyusibwe

SSAABALAMUZI wa Uganda, Alfonse Owiny-Dollo, ayagala Palamenti ekole amateeka aganaayamba okulwanyisa okusaasana...

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...