TOP
  • Home
  • Amawulire
  • UNRA bataddewo amaato okusomosa abantu ku lutindo olwagwamu amazzi ne ganjaala

UNRA bataddewo amaato okusomosa abantu ku lutindo olwagwamu amazzi ne ganjaala

Added 6th July 2020

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo okwanjaalamu amazzi gavumenti nga eyita mu kitongole kya UNRA ebawadde eryato lubasaabaze ku bwereere.






Oluguudo lwabomoka amazzi ne ganjaala mu Kisenyi kya Kkanda era ebiddka tebikyayita okujjako amaato.

Omubaka w'essaza Bbaale mu palamenti George Wilson Nsamba Kumama gyebuvuddeko yatuukako mu kitundu kya Kkanda era abatuuze ne bamukaabi ebizibu bye basanze okuva lw'amazzi okubasalako nga enyanja Kyoga ebooze.

Kumama yagambye nti yagenze mu UNRA era abakulu kwekuwereza eryato kubanga abasuubuzi baabadde baateekawo amaato gaabwe nga basolooza ku bantu 500/- n'abagenda mu nnimiro.

Emiruka ebiri gyakoseddwa nnyo era abantu babadde badduka mu maka gaabwe bano nabo gavumenti yabasuubizza okubawa amatundubaali bakole wema mwebasula.

Kumama yagambye nti bakyalinda amazzi gakendere UNRA eddemu etindire oluguudo lwa Kkanda emmotoka ziddemu okutambula.

Ne disitulikiti y'e Kayunga yawaddeyo eryato lya yingini lisaabaze abantu wabula lino abasaabaze bebaligulira amafuta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fred Bamwine ng’akwasa Ndisaba ekitabo ky’ensonga z'e Mukono.

Ndisaba akwasiddwa ofiisi

Bya JOANITA NAKATTE                                                                                           ...

David Kabanda (ku ddyo) omubaka wa Kasambya, Haji Bashir Ssempa Lubega owa Munisipaali y’e Mubende ne Micheal Muhereza Ntambi, ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende nga bawayaamu.

Abaalondeddwa ku bubaka mu ...

ABAAWANGUDDE ebifo by’ababaka ba palamenti ku kaadi ya NRM mu konsitityuwensi ez’enjawulo mu Disitulikiti y’e Mubende...

Matia Lwanga Bwanika owa Wakiso.

Ssentebe afunira mu nsako

Eyali Sipiika wa Jinja munisipaali oluvannyuma eyafuulibwa City, Moses Bizitu yategeezezza nti bassentebe ba disitulikiti...

Bakkansala ba Kampala nga bateesa mu City Hall gye buvuddeko.

Omusaala ogulindiridde aba ...

Bya MARGARET ZALWANGO OKULONDA kwa bassentebe ba Disitulikiti, bammeeya b'ebibuga (cities) ne bakkansala b'oku...

Omulabirizi Luwalira ng'asimba omuti.

Ekkanisa ne bwekwata omulir...

Omulabirizi w'e Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira agumizza Abakristaayo nti wadde sitaani asiikudde...