TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusajja acankalanyizza eddwaliro bw'abasuulidde bbebi lwa kulongoosa mukazi we n'afa

Omusajja acankalanyizza eddwaliro bw'abasuulidde bbebi lwa kulongoosa mukazi we n'afa

Added 6th July 2020

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako mukazi we okufa nga azaala.

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako mukazi we okufa nga azaala.

Joseph Mukasa omutuuze w'e Gaaza mu disitulikiti y'e Kayunga y'atutte bbebi n'amusuulira ab'eddwaliro lya Acute Medical center mu Kayunga nga agamba nti beetumiikiriza ne balongoosa mukazi we eyali alumwa okuzaala kyokka nga tebalina musaayi ekyamuviirako okufa.

Omukazi eyafiira mu lutalo lw'abakyala ye Agnes Birungi era nga ssemwandu Musaka ayagala eddwaliro litwale obuvunanyizibwa ku bw'okulabirira bbebi kubanga akaaba okwekutula ate nga n'amata ag'okumuwa tagalina.

Mukasa alumiriza nti mukazi we ab'eddwaliro lya Gavumenti e Ntenjeru baamudindika azaalire mu Kangulumira health center IV wabula Dr. Herbert Wabigogobi eyali ku 'duty' yabawugula n'abatwala mu kalwaliro ke ak'obwannanyini aka Acute Medical center gyeyamulongoosezza wabula omukazi n'ayitirayo.

Mukasa ku ddwaliro lya Acute yasanzeewo nurse Justine Wegosasa eyakutte bbebi ppaka ku poliisi y'e Kayunga.

Wayise akaseera katono Dr. Herbert n'atuuka wabula Mukasa ayagadde okwogera naye wabula dokita nga tawuliriza.

Mukasa oluvanyuma akitegedde nti bbebi bamututte ku poliisi n'amuwondera wabula olutuuseeyo agudde mu mikono gy'akulira Bambega Dominic Mmanyi n'amuyingiza akaduukulu nga amuvunaana omusango ogw'okusuula omwana.

Mukasa agamba nti anoonya bw'enkanya kubanga ab'eddwaliro lya Acute Medical center baasala olukujjukujju ne balemesa okukazi okutwalibwa e Kangulumira gyeyali asindikiddwa.

Mukasa agamba nti yasigaza abaana abato bamusumbuwa okukamala ate bwe beegattako bbebi ne gujabagira.

Dr. Herbert Wabigogobi ategeezezza Bukedde nti yedokita omutendeke era okufa kw'omukazi ssi nsobi ye kubanga bangi baawonyezza sso n'abafiiridde mu mikono gye bangi naye tebeeyisa nga Mukasa bw'akoze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...