TOP
  • Home
  • Agawano
  • Nnaalongo w'emigogo gy'abalongo 2 asirittuse n'agwa mu kinaabiro n'afa

Nnaalongo w'emigogo gy'abalongo 2 asirittuse n'agwa mu kinaabiro n'afa

Added 7th July 2020

OMUKAZI w’emigogo gy’abalongo ebiri asirituse n’agwa mu kinaabiro n’afa n’aleeka aba famire n’abatuuze mu kiyongobero

Nnaalongo n'emigogo gy'abalongo be ebiri gy'alese

Nnaalongo n'emigogo gy'abalongo be ebiri gy'alese





Nnaalongo Eva Nakimuli 24  omutuuze w'omu Good Hope zooni mu muluka gwa Makerere iii e Makerere Kavule mu minisipaali y'e Kawempe ng'abadde atunda bibala ng'abitambulizza ku mutwe  mu bitundu bya  Kawempe ebyenjawulo , ku Mmande yakedde mulamu bulungi bwe yagenze mu kinaabiro okunaaba gye yagwiridde ekigwo ekyamutuusizzaako obulabe.

Akayumba Nakimuli mw'abadde asula n'abalongo be

Abatuuze  baamuyoddeyodde ne bamuddusa mu ddwaliro e Mulago n'afa ng'abasawo tebannamukolako era amawulire g'okufa kwe geewunyisizza nnyo abatuuze kuba abamu yabadde  y'akamala okubaguza ebibala .

Steven Kavuma ssentebe yategeezezza nti Nakimuli  alese abaana 5 okuli n'emigogo gy'abalongo ebiri nga  yabadde  abalabirira ng'oluusi abadde atambula nabo ne batunda ebintu.

Abakungubazi mu lumbe lwa Nakimuli

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...