TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omubbi w'enko bamukunguzza ekyalo ne bamuligita kibooko 100!

Omubbi w'enko bamukunguzza ekyalo ne bamuligita kibooko 100!

Added 7th July 2020

Lubega nga bamukunguzza ekyalo n'enkoko enzibe

Lubega nga bamukunguzza ekyalo n'enkoko enzibe

OMUSAJJA aludde ng'abba enkoko z'abatuuze agudde ku kyokya, ku luno bakutte ne bamukuba emiggo.

Kitegeerekese nti ono abadde yakayimbulwa mu kkomera wiiki emu emabega ku misango gyegimu egy'obubbi.

Lubega nga bamukunguzza ekyalo n'enkoko enzibe

Bamukunguzzizza ekyalo nga bamusibye akandooya n'enkoko nga ereebetera mu bulago nga bwe bamukuba kibooko n'ensambaggere nga bwe bamukkaatiriza okwenenya obubbi.

Bino bibadde Namagabi "A" mu Kayunga town council mu disitulikiti y'e Kayunga.

Alex Lubega abatuuze gwe bakutte nga alina enkoko era bwe bamubuuzizza gy'agiggye n'alemwa okubanyonyola nabo kwe kumunyweza nga bamumanyi nti mubbi walulango.

Lubega abadde n'omunwe gwa kasooli era enkoko okuzikwata azisuulira kasooli bwezisembera okumulya awo n'azikwata n'abulawo.

Omu ku batuuze Muwada Sulaiman agambye nti Lubega bamumanyi mutuuze w'e Kisaaba era nga abadde yakayimbulwa ne mu kkomera lwa kubba.

Oluvanyuma baamuwewenyudde kibooko 100 ne bamuggyako enkoko ne bamuleka n'agenda nga bagamba nti ne bwe banaamusiba era ajja kuddamu kubanga obubbi alinga eyayonka obuyonke.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...

Nnawasa omubanda n'antamya ...

NZE Naboth Nuwagira, 27, mbeera Kitintale. Obulamu bwange bwonna eby’abakyala saabiwanga nnyo budde nga nnoonya...