TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Buyende bakaaba lwa nnyanja Kyoga eyabooga n'ebasengula

Ab'e Buyende bakaaba lwa nnyanja Kyoga eyabooga n'ebasengula

Added 8th July 2020

Abatuuze abawerera ddala okuva ku myalo egy’enjawulo egyetoolodde ennyanja Kyoga mu disitulikiti y’e Buyende beekubidde enduulu eri abakulembeze nga baagala badduukirirwe olw’amazzi agamaze ebbanga nga gasaanyizzaawo ebintu btabwe.

Abamu ku batuuze ku mayumba gaabwe agali wakati mu mazzi ku mwalo gw’e Kiribairya. Ebif: HENRY NSUBUGA

Abamu ku batuuze ku mayumba gaabwe agali wakati mu mazzi ku mwalo gw’e Kiribairya. Ebif: HENRY NSUBUGA

Bano bagamba nti amayumba okuli agasulwamu n'ago aga bbizinensi, emmere okuli kasooli, muwogo, lumonde, ebitooke n'ebirira ssaako zi kaabuyonjo byonna omujjuzo gw'amazzi mu nnyanja eno gwabisanyaawo.

Emyalo egyasinga okukosebwa mulimu, ogw'e Ikanda, Kiribairya, Kakooge, Kadebede ne Butongole egisangibwa mu ggombolola y'e Buyende, Busike mu ggombolola y'e Nkondo ne ku mwalo gw'e Kyankole mu ggombolola y'e Kidera.

Abatuuze baalambuzza ssentebe wa disitulikiti y'e Buyende Ronald Ziribasanga ssaako RDC Richard Ogwanga amayumba gaabwe agatwaliddwa amazzi ne babalangeza n'ezaali ennimiro zaabwe nga zonna kati matongo amazzi gaazimira dda.

Abakulembeze bano babadde n'abakulembeze b'ekiwayi ky'Abasiraamu eky'Abahmadiyya abakulembeddwa Abdul Marik Ssenfuka nga bano babadde batutte obuyambi eri abantu abaakoseddwa nga bayita mu kibiina kyabwe ekya Humanity First Uganda.

Mubiru ng'alaga agamu ku mayumba ge agaakolanga ng'ebisulo by'abantu nga kati gali wakati mu nnyanja.
RDC Ogwang ng’awaayo obuyambi bw’emmere n’ebipkozesebwa eri abatuuze, ku kkono ye Kumwidirawo ow’eby’obulamu ku lukiiko lwa disitulikiti ne Ssenfuka wakati mu bbulu.
Ebimu bizimbe omwali loogi za Miiro Mubiru ku mwalo gw’e Kakoge ebyayanjaala mu mazzi.
Ekitundu ku mwa,o gw'e Kiribairya amazzi g'ennyanja Kyoga gwe gaazingako.
Emu ku nnyumba ku mwalo ku mwalo gw’e Kakoge eyazingibwako amazzi.
Abamu ku batuuze ku mayumba gaabwe agali wakati mu mazzi ku mwalo gw’e Kiribairya.
Bernadette Kumwidirawo ow’eby’obulamu ng’asomesa abatuuze ku mwalo gw’e Kiribairya ku nsonga z’eby’obulamu.
Abamu ku batuuze ku mayumba gaabwe agali wakati mu mazzi ku mwalo gw’e Kiribairya.

Omu ku batuuze abakoseddwa ye Miiro Mubiru, ku mwalo gw'e Kakoge eyalaze ebizimbe bya loogi mw'abadde aggya ensimbi ezisoba mu kakadde kamu buli mwezi kyokka nga kati emyezi gigenze mw'etaano ng'amazzi gaabimira babundabunda bubunzibunzi n'eky'okulya tebakiraba.

Ssentebe wa disitulikiti Ziribasangaa agambye nti ne disitulikiti ekoseddwa olw'abatuuze okuba nga tebakyakola ng'embeera eno ne disitulikiti eba tekyasobola kufuna musolo gutambuza mirimu.

Ye RDC Ogwanga ategeezezza nti baamala dda okutwala amabaluwa agasaba obuyambi mu woofiisi nnyingi omuli n'eya Ssaabaminisita wa gavumenti ssaako woofiisi ya Kyabazinga wa Busoga nga basuubira essaawa yonna bano baakubafunira obuyambi.

Ye ow'eby'obulamu ku lukiiko lwa disitulikiti Bernadette Kumwidirawo 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...