TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba NRM bawagidde enkola y'akakiiko k'ebyokulonda ey'okuwera enkung'aana z'ebyobufuzi.

Aba NRM bawagidde enkola y'akakiiko k'ebyokulonda ey'okuwera enkung'aana z'ebyobufuzi.

Added 8th July 2020

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka 2021 kye bagamba nti kyakutaasa abantu obutakwatibwa ssenyiga omukambwe owa Covid 19.

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y'akakiiko k'ebyokulonda ey'okuwera enkungaana mu kampeyini z'akalulu ka 2021 kye bagamba nti kyakutaasa abantu obutakwatibwa ssenyiga omukambwe owa Covid 19.

Bino byogeddwa Ssaabawandiisi w'ekibiina kino Justine Kasule Lumumba bwabadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti ak'ebyamateeka, okuwaayo ebirowoozo byabwe ku nteekateeka y'akakiiko k'ebyokulonda okugenda mu maaso n'okutegeka okulonda mu kiseera kino ng'eggwanga liri mu kulwanyisa Covid 19.

Lumumba agambye nti bo beetegefu okukyusa ssemateeka wa NRM bwe kinaaba kibeetaagisizza basobole okwetaba bulungi mu kalulu kano. Era mu kiseera kino balinze ebiragiro ebigenda okufulumizibwa akakiiko k'ebyokulonda balyoke batandike okuwenja akalulu.

Eky'okukozesa emikutu gy'amawulire ne yintanenti okuwenja akalulu, Lumumba agamba nti beetegefu nnyo okusinga bulijjo kubanga ensi kati ezze ku mikutu gya yintanenti okuweereza obubaka nga NRM teyinza kuyitwako mulembe guno.

NRM weviiriddeyo okuwagira enteekateeka eno ng'ebibiina by'obufuzi ebiri ku ludda oluvuganya byavaayo ne biwakanya enteekateeka eno, nga bigamba nti gavumenti yandibadde erangirira akaseera akaakatyabaga mu ggwanga n'eyongezaayo okulonda, oba si ekyo ekkirize ebibiina okukuba kampeyini nga bulijjo.

Akakiiko ka palamenti ak'ebyamateeka kasuubirwa okwanjulira pala;enti lipooti yaako ku kulonda kwa 2021 ku Lwokuna lwa wiiki eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...