TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bagudde ku mulambo gwa mutuuze munnaabwe mu mwala

Bagudde ku mulambo gwa mutuuze munnaabwe mu mwala

Added 8th July 2020

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde mu mwala.

Ono  nga ye Samadu Kalungi abadde akola gwa kusomba kasasiro ku kitundu nga kiteeberezebwa okuba nga yanywedde omwenge  mungi akawungenzi k'eggulo ogwamuviiriddeko okutamiira n'agwa mu mwala n'afa mu kiro.

Abatuuze beemulungunyiza olwa poliisi okulwawo okutuuka mu kitundu okubaggyako omulambo nga ate bwe balaba aba bbooda abattika babanguyira okubakwata.

Amyuka ow'ebyokwerinda mu kitundu kino, Florence Kabasaaba asabye gavumenti ebayambe ebakolere emyala gibikibwe kubanga gyabulabe naddala eri abaana abato.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Endabirira y'akamwa n'amannyo.

▶️ Olabirira otya akamwa n'...

▶️ SSAAYANSI W'OBULAMU; Olabirira otya akamwa n'amannyo.  

Yiga okukola emisubbaawa awaka.

▶️ Yiga okukolera emisubbaa...

▶️ Yiga okukolera emisubbaawa awaka ofune ensimbi.

Dr. Specioza Wandira ng'annyonnyola.

▶️ Dr. Specioza Wandira aku...

▶️ Dr. Specioza Wandira akubirizza abantu okugenda babageme Covid 19.

Natalie E. Brown

Omubaka wa Amerika mu Ugand...

OMUBAKA wa  Amerika mu Uganda Natalie E. Brown ayagalizza  Abasiraamu ekisiibo  ekirungi n'agamba nti kino kibeera...

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...