TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ettemu n'okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera bya COVID19

Ettemu n'okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera bya COVID19

Added 11th July 2020

EBIKOLWA by’ettemu n’okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by’okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi erabudde abazadde obutalagajjalira baana mu kiseera kino nga bali waka olw’amasomero okuggalwa.

Fred Enanga

Fred Enanga

EBIKOLWA by'ettemu n'okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by'okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi erabudde abazadde obutalagajjalira baana mu kiseera kino nga bali waka olw'amasomero okuggalwa.

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga yagambye nti ebikolwa by'okusobya ku baana abawala n'abalenzi  bye bimu ku bikudde ejjembe mu bitundu by'eggwanga ebitali bimu.

Ku kyalo Kibamba e Masindi omusajja Alex Okula yasobezza ku baana abawala basatu ab'oluganda omulundi gumu. Kuno kwabaddeko abaana babiri ab'emyaka esatu n'omulala nga wa myaka ettaano. Okula abadde mukwano gwa kitaabwe yeyambisizza akakisa k'abazadde obutabaawo n'abasobyako era yalabye batiriika omusaayi nadduka ne yekkukkuma mu  bikajjo  abatuuze gye baamukwatidde ne bamukuba mizibu era poliisi yamukutte agenda kumuvunaana emisango gy'okusobya ku mabujje.

Ku kyalo Tebabinzi e Gomba omusajja Sande  John,38, yakwatiddwa poliisi ng'avunaanibwa okusobya ku muwala ow'emyaka 14 n'amufunyisa olubuto.Yamusanze akuula muddo kyokka omuwala teyasoose kwogera kyamutuuseeko yagenze okukeberwa ng'alina olubuto.

Ku kyalo Busera e Nkozi waliwo omusajja Kasim Mukwaya eyakwatiddwa ng'akase omwana omulenzi omukwano.

Ku kyalo Kayembe e Kagadi omusajja Fred Serugume kigambibwa nti mukazi we yamukoledde olukwe ne bamutemula. Enanga yagambye nti omugenzi yali yayawukana ne mukazi we n'anoba n'omwana kyokka yakomyewo awaka ng'agamba nti omwana yabadde mulwadde. Kigambibwa nti omukazi yazzeeyo gye yanobera n'atuma omusajja Bainomugisha okutta bba. Era nga kino kyategereddwa kuba yasoose kulabula baana baasigala wa musajja obutasula mu nju nti waliwo obutemu obwabadde bugenda okubakolebwako.

E Ibanda mu tawuni omusajja Asiimwe Deo ow'omu Nyamirama ward yattiddwa mutabani we Alex Tugume eyamukubye nga yeyambisa ppaasi. Tugume yagezezaako okwetta ne bigaana era poliisi yamututte mu ddwaliwo ajanjabiwe bw'anaawona bamuvunaane obutemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...