TOP

Gav't ekkirizza abagwiira 165 okudda ewaabwe

Added 11th July 2020

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe.





Omwogezi wa minisitule y'ensonga z'omunda Jocob Shems Siminyu yagambye nti abagwiira 58 bakiriziddwa okulinnya ennyonnyi ya Ethipian Airlines ne baddayo mu mawanga agatali gamu gye baava nga bayitira mu kibuga Adis Ababa ekya Ethiopia.

Abalala kwabaddeko aba South Sudan abawera 103 bazze eka nga bayitira ku nsalo ya Uganda ne South Sudan ate abantu bana ne badda e Rwanda nga bayitira e Mirama.

Uganda yagaanyi abagwiira 14 okuyingira wano. Nga ku bano kwabaddeko Bannakenya 12 , Omukongo omu  n'Omutanzania.

E Goli ku nsalo ya Uganda ne Congo Bannayuganda mukaaga abaali baagenda e Congo okupakasa bakiriziddwa okukomawo oluvannyuma lwa Congo okubafumuulayo.

Siminyu era yagambye nti Bannayuganda 24 bakiriziddwa okudda nga bava e Iraq gye baali baagenda ku kyeyo.

Pulezidenti Museveni yaggala ensalo za Uganda n'agaana abagwiira bonna okudda wabwe ne Bannayuganda okukomawo ku ntandikwa y'okulwanyisa obulwadde bwa ssenyiga mu March 2020.

Abantu nga 1,000 be bakakeberwa nga balina akawuka ka ssenyiga wadde abasoba mu 900 bajjanjabiddwa ne bawona.

Abamu ku Bannayuganda ng'abakola mu butale , saluuni ne akeedi  tebanakirizibwa kudda ku mirimu olw'okutya omuggitteko oguyinza okujja mu bifo ebyo ne guyamba mu kusasaanya ssenyiga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....