TOP
  • Home
  • Amawulire
  • "Abatakisi bafunye obukodyo bw'okutikka abasaabaze abasukka mu 8"

"Abatakisi bafunye obukodyo bw'okutikka abasaabaze abasukka mu 8"

Added 11th July 2020

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera okulemesa abaserikale okulaba omuwendo gw’abasabaze abazirimu.






Omwogezi wa poliisi Fred Enanga yagambye nti abatakisi batandise okusiiga endabirwamu z'ebidduka langi nga bagenderera okutikka abasaabaze abasukka mu munaana ogwabalagirwa nga kino kiremesa aba tulafiki okulaba ebiri munda.

Enanga yabadde mu lukung'ana lwa bannamawulire ku Media Centre n'agamba nti waliwo abantu abongera okumenya ebiragiro bya Pulezidenti Museveni bya yassaawo okutangira ssenyiga omukambwe kyokka n'awera nti ebitongole ebikuumaddembe tebijja kubattira ku liiso.

Yagambye nti takisi zaayongeza ssente olw'abasabaze abatono be baalagirwa okutwala kyokka olw'okwogala okufuna ku ssente nnyingi mu kaseera kano abamu basazeewo kusiiga ndabirwamu za mmottoka langi basabaze bangi.

Mu ngeri y'emu Enanga yagambye nti poliisi eyiye bambega okuyigga abantu abakola obubaga mu maka gaabwe kuba  n'okukung'anya abantu n'agamba nti egenda kwongera amaanyi mu kukola ebikwekweeto okubayigga.

Yagambye nti emikolo omuli okuziika n'embaga ebitebereka abantu balina kuba batono ng'ate beesudde amabanga. N'agamba nti embaga erina kubaako abantu abatasukka kkumi.

Enanga era eyalabudde abakazi abali embuto okwewala okukwatibwa ssenyiga kuba kizuuliddwa obulwadde buno  omukazi asobola okubusiiga omwana ali mu lubuto.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....