TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakulembeze mu Kawempe bennyamivu lwa balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa

Abakulembeze mu Kawempe bennyamivu lwa balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa

Added 11th July 2020

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja ssente z’obupangisa.





Bagamba nti emisango gye basinze okufuna mu ofiisi zaabwe be balandiroodi  abafuuse ekizibu eri abapangisa baabwe ng'abamu batuuka n'okubawanguliramu enzigi n'okuggyako amabaati ku mayumba olwa ssente ezibabangibwa.

Gyebuvuddeko omukulembeze w'eggwanga yasaba bannanyini mayumba obutagobaganya bapangisa olw'okuba babadde mu kalantini nga tebakola mu kawefube w'okulwanyisa ekirwadde kya COVID-19 yadde emirimu egimu gyakirizibwa okuddamu okukola naye waliwo abakyali awaka nga tebakola bino byonna bannanyini mayumba bagamba tebibakwatako kuba amayumba nabo baagazimba kufunamu ssente zibalabirira .

Herbert Kimbugwe ssentebe wa LCII mu muluka gwe Komamboga yagambye nti buli lunaku mu ofiisi ye afuna emisango gy'aba  landiroodi nga bagobaganya abapangisa , yagasseko nti abapangisa emizigo be bankola mmere ya leero ng'abasinga tebakola n'abaddamu okukola enyingizza yakendeera ng'omukulembeze w'eggwanga alina okuvaayo n'abako kyakolera ensonga eno .

"Bannanyini mayumba nabo tobanenya kuba abamu amayumba ge batunulidde okujjamu ssente ezibayimirizaawo wabula n'abapangisa tebakyakola abamu banoonya n'okutereka ebintu tebalabawo we tusabira omukulembeze w'eggwanga okuleka abantu baddemu okukola" Kimbugwe bwe yategeezezza

Daniel Mayombwe  ssentebe wa Kitambuuzza zooni mu muluka gwe Kayanya yategeezezza nti ba landiroodi embeera y'okubanja ebaviriddeko okwerabira amateeka ne bakola ebintu ebiyinza okubasibya , yagasseko nti buli lunaku teeka afuna emisango ng'abapangisa bekubiirav enduulu olwa ba landiroodi abafuuse ab'obulabe nga kati bawangula enzigi mu miryango ,boongera kufulu ku mizigo gy'abapangisa .

Mike Ssemakula omuwandiisi ku kakiiko ka LC e Nammere yategeezezza nti emisango gye basinga okufuna mu kiseera kino gya bapangisa ne bannanyini mayumba ng'abamu  ba landiroodi batuuse n'okusibwa ku poliisi olw'okumenya amateeka ne bawangula enzigi mu mayumba ,okujjako amabaati n'okwongera kufulu ku nzigi.

Yayongedde nti KCCA  esindiika obubaka ku massimu ng'abannanyini mayumba ng'ebabanja omusolo gw'amayumba ogwa buli mwaka kyonna ne bbanka ebanga ery'emyezi ze zaawa abantu giweddeko nga gavumenti erina okuvaayo bunambiro okutaasa embeera lwaki bannanyini mayumba basonyiwe omusolo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...

Abakuumaddembe nga batwala omulambo gw'omukazi eyattiddwa.

Ab'e Nansana beeraliikirivu...

Abatuuze b'e Nansana beeraliikirivu olw'abantu abazze bawambibwa ate oluvannyuma ne basanga nga battiddwa mu bukambwe....

Bebe Cool.

Bebe Cool alabudde Nubian L...

Bebe Cool alabudde omuyimbi Nubian Lee ne Pulodyusa Dan Magic n'abasaba okukomya okwenyigira mu bikolwa ebisoomooza...

Dr. Mugisha ng'annyonnyola ebya kokoolo.

▶️ Abaafa kokoolo w'obusajj...

Okusinziira ku Dr. Noleb Mugisha omukugu mu kujjanjaba kookolo mu ddwaaliro lya kookolo erya Uganda Cancer Institute...

Abagole nga bali ne Katikkiro wa Buganda, Charles Mayiga.

Katikkiro asiimye Wessaali ...

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Obwakabaka bussa nnyo ekitiibwa mu bufumbo ng'eno y'emu ku...