TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akumye ku famire ye omuliro lwa kuteebereza mukazi we kwendera mu bufumbo

Akumye ku famire ye omuliro lwa kuteebereza mukazi we kwendera mu bufumbo

Added 11th July 2020

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze





Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu agakuba ng'alina baayogera nabo mu kiro ekintu ky'agamba nti abaddenga alina abasajja baayogeranga nabo mu kiro.

Mutumba omukyala ono abadde amulinamu abaana bataano era nga awaka wabaddewo abaana babiri okuli; Viola Nansereko 16 ne Victoria Nambooze ow'emyaka ebiri n'ekitundu era ng'ono yaggyiiridde mu nnyumba n'abengeya oluvannyuma lwa poliisi ezikiza omuliro okulwawo okutuuka mu kifo kino.

Muwala wa Mutumba omukulu eyabadde asuze mu nnyumba Viola Nansereko yategeezezza Bukedde nti kitaabwe Ronald Mutumba abadde takyabeera na nnyaabwe era awaka ajja lwalumu, naye ku Lwokuna yamukubidde n'amutegeeza nti yali waakusula eno enkeera ku Lwokutaano era maama we n'amulindirira.

Mirembe ng'apooca n'ebisago

Nansereko agamba nti kitaabwe olwatuuka awaka ne bayombamu ko ne maama we kyokka ne batagenda wala naye eyo mu kiro nga mu ssaawa 8 kitaawe yamuzuukusa n'amusaba afulume ebweru eno nga bw'akubira baganda ba Nansereko amasimu ng'abalagirira w'agenda okuteeka ebyapa by'ettaka n'ebiwandiiko ebirala.

Ono ayongerako nti kitaawe yamulemerako nnyo okufuluma wabweru kyokka nga nnyina amugaana era nga bw'amubuuza ensonga lwaki afulumya omwana ebweru ekiro mu matumbibudde era Nansereko n'addawo ne yeebaka.

Nga wayise akaseera Nansereko agamba nti kitaawe yatandise okuyiira nnyina ebintu by'ataategedde eno nga nnyina Mirembe bw'abuuza Mutumba biki by'amuyiira ebinnyogoga bityo naye nga Mutumba tamuwuuna.

Ebimu ku bintu ebyasaanyiziddwaawo omuliro

Ono olwamaze okukola kino n'akwata akabiriiti n'akakoleeza n'akakasuka ku buliri Mirembe kwe yabadde yeebasse ne muwala we omuto Victoria Nambooze ow'emyaka 2 ennyumba yonna n'etandika okuteta era ekyaddiridde kwabadde kukuba nduulu eyasombodde abatuuze.

Nansereko agamba nti olwalabye nga Mutumba akoleezezza omuliro n'afubutuka mu buliri n'asamba oluggi n'afuluma wabweru eno nga bw'akuba enduulu kyokka abadduukirize ne balwawo okutuuka engeri gye batya kafiyu okubakwata.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....