TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakulembeze mwongere amaanyi mu bintu ebiyamba abatuuze - Amelia Kyambadde

Abakulembeze mwongere amaanyi mu bintu ebiyamba abatuuze - Amelia Kyambadde

Added 13th July 2020

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde n'abakubiriza okwongera amaanyi ku bintu ebiyamba ekitundu.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi





Abatuuze b'e Mpambire nga bakulembeddwamu ekibiina kya Twezimbe Development Foundation ekikulirwa omubaka wa Mawokota North, Amelia Kyambadde bakoze bulungibwansi ne bagogola oluzzi olubadde lufuuse ekidiba mu kaweefube w'okutangira endwadde eziva ku bukyafu. 

Kino kiddiridde abatuuze okulajaanira omubaka Amelia Kyambadde ku bbula lyamazzi mu kitundu erivudde ku luzzi luno olwabazimbirwa omubaka Amelia oluyamba abantu okuva ku byalo bisatu okwononeka olwa mukoka nga abantu babadde batuuse nokusena ebitaba ekiwalirizza ekibiina kya Twezimbe okulugogola nga bali wamu nabatuuze. 

Amelia yenNyambidde ku mbeera y'oluzzi lumu gye lubaddemu n'asaba abakulembeze b'ebyalo n'abatuuze okunnyikiza enkola ya bulungibwansi nga bwe gwali edda okwewala okufiirwa ebintu ng'enzizzi, enguudo n'ebirala. 

Ssentebe w'abavubuka mu Mpigi town Council, Fahad Mubiru asiimye Amelia Kyambadde olw'omulimu gw'abakozeemu kyokka n'asaba abatuuze okwekolamu omulimu mu bintu ebibagatta naddala amazzi okwewala endwadde eziva ku bukyafu.

Abatuuze nga bakola bulungibwansi
EKIBIINA kyobwanakyewa kikulembeddemu abatuuze be Mpambire nebakola
bulungi bwansi omubaka Amelia Kyambadde nabakubiriza okwongera amaanyi
ku bintu ebiyamba ekitundu.

Abatuuze be Mpambire nga bakulembeddwamu ekibiina kya Twezimbe
Development Foundation ekikulirwa omubaka wa Mawokota North Amelia
Kyambadde bakoze bulungi bwansi nebagogola oluzzi olubadde lufuuse
ekidiba mu kaweefube wokutangira endwadde eziva ku bukyafu.

Kino kiddiridde abatuuze okulajaanira omubaka Amelia Kyambadde ku
bbula lyamazzi mu kitundu erivudde ku luzzi luno olwabazimbirwa
omubaka Amelia oluyamba abantu okuva ku byalo bisatu okwononeka olwa
mukoka nga abantu babadde batuuse nokusena ebitaba ekiwalirizza
ekibiina kya Twezimbe okulugogola nga bali wamu nabatuuze.

Amelia yenyambidde ku mbeera y'oluzzi lumu gyelubaddemu nasaba
abakulembeze be byalo nabatuuze okunyikiza enkola ya bulungi bwansi
nga bwegwali edda okwewala okufiirwa ebintu nga enzizzi, enguudo
nebirala.

Ssentebe wabavubuka mu Mpigi town Council Fahad Mubiru asiimye Amelia
Kyambadde olwomulimu gwabakozemu kyokka nasaba abatuuze okwekolamu
omulimu mu bintu ebibagatta naddala amazzi okwewala endwadde eziva ku
bukyafu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paasita Yiga

Paasita Yiga mulwadde muyi

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi...

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Abaana be nasomesanga bansa...

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld...

Ssaabasumba ayagala bwerufu...

SSAABASUMBA w’essaza ekkulu erya Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye gavumenti okulaga obwerufu mu misolo...

Namwanje ng'alaga ennyumba mwe yali atadde essomero.

Abasomesa balojja omuggalo ...

AWAALI essomero e Kabowa, bw'oyitawo kati ekiro owulira bafuluuta! Oyinza okusooka okulowooza nti osanga bayizi...

Mukasa ng'ayambaza owa bboodabbooda ekikoofiira.

NRM yandikozesa akavuyo ka ...

MUNNA NRM, Charles Keneth Male atandise okubuguma oluvannyuma lw’okulaba ng’amuvuganya mu Lubaga South bayitiridde...