TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuliro gwokezza amayumba 10 e Kawaala: Bali mu maziga!

Omuliro gwokezza amayumba 10 e Kawaala: Bali mu maziga!

Added 14th July 2020

ABATUUZE b’e Kawaala bali mu maziga olw’omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze okusaanyaawo amayumba agawera ne bizinensi ez’enjawulo. Bino byabadde mu Kawaala Central zooni mu munisipaali y’e Lubaga ku Ssande.

Abatuuze nga bagezaako okuzikiriza omuliro

Abatuuze nga bagezaako okuzikiriza omuliro

Omuliro gwatandise ku ssaawa 7:00 ez'emisana. Okusinziira ku baabaddewo gwatandikidde mu bajjiro eriyitibwa Amber Kenzi Investment omutaawonye kintu olwo ne gusaasaanira amayumba agasoba mu 10 okuli n'eya nnaabakyala w'ekyalo, Sauma Nassali naye ataasigazza kantu mu nnyumba.

Embeera yabadde ya kavuvung'ano ng'abadduukirize abamu bakira bwe babaako bye bataasa mu muliro ate bakyalakimpadde abamu nga babitwala!

Abadduukirize bakulembeddwaamu kkansala w'ekitundu era sipiika w'olukiiko lwa KCCA, Abubaker Kawalya era baakoze buli kisoboka okutaasa ebintu by'abatuuze naye omuliro nga mungi.

Abantu nga bagezaako okuzikiza omuliro
Ekibanda nga kiteta.

Oluvannyuma poliisi y'omuliro yatuuse n'emmotoka ssatu ne baguzikiza kyokka nga kyabatwalidde essaawa satu. Abaafiiriddwa ebyabwe kuliko; Ahmad Kakande ne Ahmed Zziwa ow'ebbajjiro eyategeezezza nti mwabaddemu ebintu bya bukadde.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owosigyire yategeezezza nti obuzibu obwavuddeko omuliro okusaasaana ennyo kyavudde ku bantu okusooka okwagala okugwezikiririza ne batategeerezaawo poliisi.

ABATUUZE b'e Kawaala bali mu
maziga olw'omuliro ogugambibwa
okuva ku masannyalaze okusaanyaawo
amayumba agawera ne
bizinensi ez'enjawulo.
Bino byabadde mu
Kawaala Central zooni mu
munisipaali y'e Lubaga ku
Ssande. Omuliro gwatandise
ku ssaawa 7:00 ez'emisana.
Okusinziira ku baabaddewo
gwatandikidde mu
bajjiro eriyitibwa Amber
Kenzi Investment
omutaawonye kintu
olwo ne gusaasaanira amayumba
agasoba mu 10 okuli n'eya nnaabakyala
w'ekyalo, Sauma
Nassali naye ataasigazza
kantu mu nnyumba.
Embeera
yabadde ya
kavuvung'ano
ng'abadduukirize
abamu bakira
bwe babaako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...