TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebyapa Basajjabalaba by'alina bisattiza abatuuze b'e Luzira

Ebyapa Basajjabalaba by'alina bisattiza abatuuze b'e Luzira

Added 14th July 2020

EBYAPA omugagga Haji Hassan Basajjabalaba bye yafuna ku ttaka lya Panda PL e Luzira, bisattiza abatuuze nga bagamba wandibaawo ekkobaane wakati wa Basajjabalaba ne NEMA okwagala okubasengula yezze ettaka.

Basajjabalaba

Basajjabalaba





Abatuuze abaludde nga beekubira enduulu eri Gavumenti okubadduukirira olwa NEMA okwagala okubasengula awatali kubaliyirira bagamba nti baludde nga bawulira oluvuvuumo nga bwe waliwo abagagga abaagala okwezza ettaka lyabwe nga bakozesa ekitongole kya NEMA.

Bagamba nti NEMA olwali okubawa ebiwandiiko ebibalagira okusenguka ku ttaka kwe bamaze emyaka ate n'omugagga Basajjabalaba naye n'ategeeza nga bw'alina ebyapa ku ttaka eryo.

Abatuuze nga bakulembeddwa ssentebe waabwe, Joseph Tomusange, baasinzidde mu nsisinkano yaabwe ne Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago ne bamutegeeza nga bwe bakizudde nti Basajjabalaba alina ebyapa bitaano ku ttaka NEMA kweyagala okubagoba ng'egamba nti beesenza mu lutobazzi.

Tomusange mu kunnyonnyola yategeezezza Lukwago nti abatuuze beekozeemu omulimu ne balondoola ebyapa Basajjabalaba, by'ayogerako ne bakizuula nti alina ebyapa bitaano mu kitundu ekyo.

Tomusange yategeezezza nti Basajjabalaba yabategeeza nti ye ng'omuntu mwetegefu okusasula abantu bonna abali ku ttaka lye ye agasimbagane ne Gavumenti.

Kino, Tomusange kye yagambye nti kyawudde mu batuuze ng'abamu baagala babasasule kyokka nti abalala tebasemba kya kubasengula.

Tomusange yakwasizza Loodi Meeya, ezimu ku mpapula ze baafunye ku byapa bya Basajjabalaba ne bamusaba ayongere okubataangaaza ku bwannannyini obutuufu obw'ettaka.

Lukwago, mu kwanukula abatuuze yagambye nti: "Okusinziira ku biwandiiko bye mumpadde, Basajjabalaba yafuna liizi ya myaka 47 ku ttaka lino kwe muli ku bukadde 13! Buno bubbi bwennyini naye ffe katugende tutapute amateeka zaabike emipiira,"Lukwago bwe yategeezezza.

EBYAPA omugagga Haji Hassan
Basajjabalaba bye yafuna ku ttaka
lya Panda PL e Luzira, bisattiza
abatuuze nga bagamba wandibaawo
ekkobaane wakati wa Basajjabalaba
ne NEMA okwagala okubasengula
yezze ettaka.
Abatuuze abaludde nga
beekubira enduulu eri Gavumenti
okubadduukirira olwa
NEMA okwagala okubasengula
awatali kubaliyirira bagamba
nti baludde nga bawulira
oluvuvuumo nga bwe waliwo
abagagga abaagala okwezza
ettaka lyabwe nga bakozesa
ekitongole kya NEMA.
Bagamba nti NEMA olwali
okubawa ebiwandiiko
ebibalagira okusenguka ku
ttaka kwe bamaze emyaka
ate n'omugagga Basajjabalaba naye
n'ategeeza nga bw'alina ebyapa ku
ttaka eryo.
Abatuuze nga bakulembeddwa
ssentebe waabwe, Joseph Tomusange,
baasinzidde mu nsisinkano yaabwe
ne Loodi Meeya wa Kampala, Erias
Lukwago ne bamutegeeza nga bwe
bakizudde nti Basajjabalaba alina
ebyapa bitaano ku ttaka NEMA
kweyagala okubagoba
ng'egamba
nti beesenza mu
lutobazzi.
Tomusange mu
kunnyonnyola
yategeezezza Lukwago
nti abatuuze
beekozeemu
omulimu ne
balondoola ebyapa
Basajjabalaba,
by'ayogerako ne
bakizuula nti alina
ebyapa bitaano mu kitundu ekyo.
Tomusange yategeezezza nti
Basajjabalaba yabategeeza nti ye
ng'omuntu mwetegefu okusasula
abantu bonna abali ku ttaka lye
ye agasimbagane ne Gavumenti.
Kino, Tomusange kye yagambye nti
kyawudde mu batuuze ng'abamu
baagala babasasule kyokka nti abalala
tebasemba kya kubasengula.
Tomusange yakwasizza Loodi
Meeya, ezimu ku mpapula ze baafunye
ku byapa bya Basajjabalaba
ne bamusaba ayongere okubataangaaza
ku bwannannyini obutuufu
obw'ettaka.
Lukwago, mu kwanukula abatuuze
yagambye nti: "Okusinziira ku
biwandiiko bye mumpadde, Basajjabalaba
yafuna liizi ya myaka 47 ku
ttaka lino kwe muli ku bukadde 13!
Buno bubbi bwennyini naye ffe katugende
tutapute amateeka zaabike
emipiira,"Lukwago bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...