TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekibalo ky'okulima ennyaanya n'ozifunamu: Osobola okufuna obukadde 44 mu myezi esatu

Ekibalo ky'okulima ennyaanya n'ozifunamu: Osobola okufuna obukadde 44 mu myezi esatu

Added 14th July 2020

ENNYAANYA kireme ekyettanirwa abangi olw’okuba kikula mangu ate nga kirina akatale okutandikira ku bantu b’okukyalo okutuuka ku k’ebweru. Singa omanya ebituufu by’olina okukola, osobola okufuna obukadde 44 mu myezi esatu gyokka.






Ø Yiika y'ennyaanya osobola okusaawa 100,000/-, okufuuyira 130,000/- oba okukozesa tulakita 150,000/-.

Ø Wano olina okukabala okukakasa nti ettaka ligonda bulungi kuba ennyaanya emirandira gyazo minafu nga wano osobola okukozesa 200,000/-.

Ø Weetaaga okukola nasalebeedi ng'eyinza okutwala 100,000/-. Okuli omukozi, amazzi, ekitimba.

Yiika egendamu ebikolo 8,888 ng'osimbye mu mabanga ga 60cm okuva ku kikolo okutuuka ku kirala ate wakati wa layini 75cm.

Ø Saketi y'ensigo ebeeramu ensigo 1,000, ennungi egula wakati wa 30,000/- ne 50,000/-. Wano weetaaga saketi Mwenda ne kitegeeza nti ogenda kusaasaanya 270,000/- oba 450,000/-. Kyokka waliwo n'ezituuka mu kakadde.

Ø Eddagala (fungicides), 400,000/- ate Pesticides lya 200,000/-.

Ø Ogenda kwetaaga abakozi bana nga singa buli omu omusasula 150,000/- buli mwezi, okumala emyezi 

esatu ogenda kusaasaanya 1,800,000/- ku bakozi.

Ø Wano obeera osaasaanyizza 3,070,000/- oba 3,250,000/-.

Ø Ennyaanya bw'ebala obulungi, buli kikolo osobola okukifunako kkiro 5 nga wano obeera ofunye kiro 44,440.

ØSinga otunda kkiro ku 1,000/- ofuna 44,440,000/-. Kitegeeza nti ogenda kufuna 41,190,000/- oba 41,370,000/-.

BY'OLINA OKWETEGEREZA

lOlina okufuna olulyo olutuufu.

l Oyinza okwetaaga oikukebera ettaka, okugeza waliwo olulyo olutadda Kyaggwe

l Olina okubala sizoni n'osimbira awatuufu.

l Zirian lwe zigwe ebbeeyi bokisi ennamba n'egula emitwalo omusanvu

l Olina kugukola nga mulimu gw'otalina kuvaako wadde zigudde ebbeeyi

l Buli kiseera olina okumanya akatale bwe kayimiridde

l Mmanya eddagala ettuufu era olikozese mu butuufu bwalyo

l Ayagala akatale k'abazungu olina kukozesa ddagala n'ebigimusa ebiyitibwa Oraganic

Bikung'aanyiziddwa Herbert Musoke okuva ku John Ssenkaayi omukugu mu by'obulimi n'ekitongole kya Integrated Seed Sector Development.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...