TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuyimbi muzibe asaba kuvujjirirwa nga Fresh Kid: Ku myaka 12 alina ennyimba 10 bwe ddu!

Omuyimbi muzibe asaba kuvujjirirwa nga Fresh Kid: Ku myaka 12 alina ennyimba 10 bwe ddu!

Added 14th July 2020

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

BYA SOPHIE NALULE

Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange n'okulaba ku muyimbi owekitone olweggwoowo ly'ayimbisa kyokka bw'omutuukako bw'okakasa nti mwana muto ate muzibe talaba!

Nankabirwa alina ebyewuunyisa bingi ng'omusemberedde. Abeera ne maama we Nnaalongo Jennifer Nabukenya ku kyalo Buswabulongo mu Munisipaali y'e Mityana, asoma P.3 ku New day Primary School wabula ng'okusoma akasoobo kyava ku maaso agaalwala nga wa myezi esatu ne gaziba na kati taddangamu kulaba era buli ky'akola maanyi ga Katonda n'okukozesa obwongo bwe. Emisomo yagitandikira ku myaka 7 olwembeera ye.

Nankabirwa eyaziba amaaso ng'alya mu ndago

 

Bw'ati Nankabirwa yayanyumizzaamu n'omusasi waffe;

Eky'obutalaba nga ntandise buyise kyankosa naye nga sirina kyakukola, nga bwe ng'enda mu kibiina bannange bamanyi okunjerega n'onkusekerera nti ndi muzibe ate nsoma n'abato, nga kinnuma mpulira maloboozi gokka naye nga sirina baani abangeya kale nga sirina kyakukola.

Nakigumira kubanga kyenjagala nange kubaako kyembeera mu bulamu bwensi eno, mpozzi n'okuyiga Oluzungu kuba kikulu.

Nankabira talaba, amaaso gaaziba

 

Kyokka buli lwe nnabanga mu bannange nga mbeerako embeera gyenjiga ne ntuula ne nneefumitiriza nzekka ne mbaako ebigambo byenteeka mu bwongo nenjiiya oluyimba ate ne lukwatayo era okulukakasa nga bwenzirayo nnyimbiramu maama naye ne yeewuunya ate ng'alina okukkriza nti nze ndweyiiyirizza kubanga siraba nti waliwo ampandiikira byennyimba. Olaba ne ku ssomero mpuliriza basomesa nga bwenteeka mu mutwe.

Wenjogerera nnakayiiya ennyimba 10, esatu ze nnaakakolera audio kuliko; Abato, Tojerega bintu bya Mukama, n'olwemikola 'Abagenyi baffe. Enyimba endala zenjiiyizza kuliko; Come Dance, Omuliro ssigutya n'endala nnyingi.

Ntuula awo ne mbirowooza lwaki ndi bwenti ng'ate ssi bwe nnazaalibwa naye oluusi ne nsaba Katonda n'angumya. Ekintiisa nti ndi mwana muto siraba kubanga nandibadde nsobola okwenoonyeza maneja n'abazirakisa bankwate ku mukono nga Fresh Kid.

Nankabirwa yadde talaba, asobola okuwaata emmere naddala amatooke n'okukola emirimu emirala

 

Wadde ndi muzibe ng'oggyeeko nti nneyiiyiza ennyimba ne nnyimba naye buli mulimu ngusobola era situula awo kuwulira nga maama akola emirimu muyambako anti obulema ssi buteesobola.

 

Nsaba Maama Fiina, Minisita era omubaka omukyala ow'e Mityana Judith Nabakooba n'abantu ssekinoomu buli asobola okunnyamba okunziruukirira nsobole okukwata ennyimba zange ku audio oba okunkwata ku mukono ku nnamba z'essimu zino 0757658502 oba 0776402735.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...