TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mabirizi attunse ne Ssaabawolereza ku musango gw'okuggya ekkomo ku myaka

Mabirizi attunse ne Ssaabawolereza ku musango gw'okuggya ekkomo ku myaka

Added 15th July 2020

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi asabye kkooti ya East Africa ezzeewo ekkomo ku myaka gya pulezidenti kubanga palamenti okukiggyawo kye yakola kikontana n’endagaano etondawo omukago.

Male Mabirizi

Male Mabirizi

Ssabawolereza wa Uganda William Byaruhanga ye yakulembedde bannamateeka ku ludda lwa gavumenti n'ategeeza nti byonna Palamenti ne kkooti bye baakola bitambulira mu mateeka.

Byaruhanga asabye Mabiriizi addeyo ku LDC asome kimuyambe okuyiga engeri emisango gye gitambuzibwamu mu kkooti.

Mabirizi yaddukira mu kkooti ya East Africa ng'awakanya kkooti ya Uganda ensukkulumu okukakasa ennongoosereza eggyawo ekkomo ku myaka gy'omuntu ayagala okuvuganya ku bwapulezidenti.

Mabiriizi ategeezezza abalamuzi nti byonna ebyakolebwa bikontana n'endagaano etondawo omukago kubanga eruubirira kuleeta mirembe kyokka palamenti ya Uganda okukola ennongoosereza teyagoberera mitendera.

Agattako nti eryanyi eryakozesebwa bwe bakkiriza amagye okuyingira palamenti ne gakuba ababaka ate abamu sipiika n'abagoba ne batakuba kalulu kusalawo biraga nti Uganda efugirwa ku lyanyi lya mmundu.

Asabye abalamuzi nti balina okubeera abeegendereza nga basalawo ku nsonga ezo ne bazzaawo ekkomo ku myaka kubanga kigasa omuntu omu Pulezidenti Museveni ayagala okuddamu okwesimbawo si Bannayuganda bonna.

Abajjukizza nti balina abaana, abakyala n'abenganda n'abasaba beteeke mu bigere bya Bannayuganda singa balekawo embeera eno eyinza okuviirako ekiyiwa musaayi.

Byaruhanga agambye nti kikontana n'ennyinga 60 mu ndagaano etondawo omukago gwa East Africa, okusazaamu amateeka agakoleddwa mu Uganda erina ssemateeka eyetongodde.

Okugamba nti kkooti etaputa ssemateeka yalemwa okuwulira omusango n'ewa ensala mu nnaku 60 agambye nti mu mbeera eno Mabiriizi talina tteeka lyonna lyeyanokoddeyo ly'agamba nti baalimenya nga tebawadde nsala mu nnaku 60.

Byaruhanga asabye kkooti egobe omusango gwa Mabiriizi kubanga mu byonna bye by'abannyonnyodde byabadde bikakasa nti ebyakolebwa mu kukyusa ssematekeeta temwalimu kimenya ndagaano eyateekawo omukago gwa East Africa.

December 20th, 2017 palamenti ya Uganda yayisa ekiteeso okuggyawo ekkomo ery'emyaka 75 ku muntu ayagala okuvuganya ku bwapulezidenti.

Mabiriizi n'abalala baatwala omusango mu kkooti etaputa Ssemateeka nga bawakanya ekyakolebwa wabula kkooti eno n'ekkiriziganya ne palamenti.

Mabiriizi yeeyongerayo mu kkooti ey'okuntikko mu 2018 kyokka nayo n'ekkiriziganya ne kkooti eyawansi kye yavudde atwala ensonga mu kkooti ya East Africa omusango guli ku nnamba 6 /2019.

Omusango guwuliddwa Abalamuzi basatu; Monica Mugenyi eyabakulidde nga bawulira omusango, Charles Nyawello ne Charles Nyachae. 

Omulamuzi Mugenyi ategeezezza nti bajja kutegeeza enjuyi zombi ddi lwe bagenda okuwa ensala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...