TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gav't etumizza ekyuma ekyeyambisibwa okukebera Corona

Gav't etumizza ekyuma ekyeyambisibwa okukebera Corona

Added 15th July 2020

GAVUMENTI etumizza ekyuma ekifulumya kemiko ezeeyambisibwa mu kukebera obulwadde bwa Corona n’endwadde endala. Kisuubirwa kutuuka mu gw’Omunaana omwaka guno.





Ekyama kino kibikuddwa Minisita wa Ssaayansi ne Tekinologiya Elioda Tumwesigye bwabadde alabiseeko mu kakiiko ka Palamenti akalondoola eby'enfuna by'eggwanga akakubirizibwa Omubaka Syda Bbumba (Nakaseke North).

Tumwesigye agambye nti ekyuma kino ekiyitibwa PRC machine, kyakuwementa Obuwumbi butaano obw'ensimbi za Uganda nga kiva mu America.

Ayongeddeko nti Uganda y'ensi y'Africa egenda okusooka okugula ekyuma kino era basuubira ensi z'Africa n'eza Ssemazinga endala okujjanga wano okugula kemiko zino ekintu ekijja okwongera ku by'enfuna by'eggwanga.

Era kyakuyamba gavumenti okutaasa sente ezibadde zigenda mu kugula kemiko zino n'addala mu kiseera kino eky'obulwadde bwa Covid 19, kubanga Uganda egenda kuba efulumya ezaayo.

Kemiko ezifulumizibwa ekyuma kino zebatabula mu Sampolo eziggyibwa ku muntu ne ziraba oba alina akawuka akaleeta obulwadde obuba bukeberebwa.

Anyonnyodde nti ekyuma kino tekifulumya bikebera Corona yekka wabula n'endwadde endala ezireetebwa obuwuka omuli ne siriimu.

Okujja kwa Corona yagambye nti kwe kwawalirizza gavumenti okugula ekyuma kino kubanga Corona bwe yajja ensi yonna yali mu bbula lya Kemiko ezikozesebwa mu kubera akawuka kano ekyazibuwaza omulimu gw'okulwanyisa Corona mu budde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...