TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Seya akomyewo ku kya mmeeya attunke ne Lukwago: Ajjidde mu People Power

Seya akomyewo ku kya mmeeya attunke ne Lukwago: Ajjidde mu People Power

Added 15th July 2020

HAJI Nasser Ntege Sebaggala alangiridde nga bw’agenda okuvuganya ku bwa Loodi Meeya wa Kampala n’agamba nti azze kuggyawo Erias Lukwago gwe yayogeddeko nti avuluze ekibuga n’akatagga.

Lukwago ne Seya Sebaggala

Lukwago ne Seya Sebaggala


Sebaggala amanyiddwa nga ‘Seya' agambye nti yasoose kwebuuza ku bantu ab'ensonga era bonna ne bamusemba akomewo akulembere Kampala asobole okutereeza ekibuga.

Yayongeddeko nti abantu bonna abaagala ekifo kya Loodi Meeya ng'atandikira ku Lukwago yennyini, tabalabamu busobozi n'agamba nti emyaka 10 Lukwago gy'akulembedde ekibuga, talina kintu ky'ayinza kusongerako bantu ky'akoze.

Yanokoddeyo n'abalala abaagala ekifo kya Loodi Meeya okuli mulamu we Nabilah Naggayi Ssempala, Jose Chameleone, Godfrey Nyakana n'abalala, n'agamba nti bonna abasinga obumanyirivu mu nzirukanya y'ekibuga.

Omwaka oguwedde, Latif Ssebaggala (muganda wa Seya) ye yasooka okwagala okuvuganya Lukwago, wabula oluvannyuma yabivaako n'agamba nti azzeeyo addemu okuvuganya ku kifo ky'omubaka wa Kawempe North mu Palamenti era kati ali mu kakuyege.

Seya yategeezezza Bukedde eggulo nti obwa Loodi Meeya bwetaaga omuntu aludde mu kibuga ng'akitegeera. Eno enkizo yagambye nti y'agirina kuba yazaalibwa Kisaasi n'akolera mu katale k'e Nakasero era obulamu bwe bwonna butambulidde mu kibuga Kampala. Yagasseeko nti teri muntu asobola kutereeza nsonga za basuubuzi kusinga ye kubanga ky'ekisaawe mw'abadde ebbanga lyonna.

"Ekifo kya Loodi Meeya kya kitiibwa nnyo kyotasobola kuteekamu muntu gwe basiiba bawanika empale ng'agugulana ne poliisi. Ekiriwo abakulembeze batabiikiriza ebyobufuzi mu buli nsonga ne beerabira nti abantu beetaaga buweereza" Sebaggala bwe yagambye.

Seya we yeesowoleddeyo, nga ne Nabilah yaakamala okwanjulira bakakuyege be nga bw'atagenda kuddamu kuvuganya ku kifo kya mubaka omukyala owa Kampala, wabula agenda kuvuganya Lukwago mu kalulu k'omwaka ogujja.

YEEGASSE KU PEOPLE POWER

Wadde Seya alina ekifo ky'omuwi w'amagezi eri Pulezidenti, wabula yagambye nti asazeewo okwegatta ku kisinde kya People Power ekikulemberwa Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) era mw'agenda okuvuganyiza. Wabula tekinnategeerekeka ku Seya, Chameleone ne Nabilah aba People Power gwe banaawandako eddusu, kubanga bonsatule basuubira obuwagizi bwa Bobi Wine n'ekisinde kye.

Seya yagambye nti embeera eriwo mu kiseera kino, ebibiina by'obufuzi binafu nnyo bw'obigera-ageranya n'ekisinde kya People Power, n'awa amagezi FDC, DP, UPC, CP, JEEMA n'ebibiina ebirala ebivuganya Gavumenti okusimba emabega wa Bobi Wine.

Ku bwapulezidenti, Seya yagambye nti waakuwagira Bobi Wine kuba y'akwatagana obulungi n'abavubuka abasinga obungi mu ggwanga. Ekyokubiri tava mu kitundu kya Bugwanjuba ng'abavuganya abalala abasinga; n'asaba Dr. Kizza Besigye ne Gen. Mugisha Muntu ekyo bakirowoozeeko, nabo bawagire Bobi Wine.

Ng'omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za ba yinvesita, Seya yasabye Pulezidenti asigaze obwa ssentebe bw'ekibiina, entebe y'eggwanga agyerese kuba emyaka 35 gy'akulembedde gimala.

Omubaka Jesca Ababiku (mukazi -Adjuman) ssentebe w'akakiiko akakola ku nsonga z'obwapulezidenti yagambye nti abawi b'amagezi eri Pulezidenti tekibeetaagisa kusooka kulekulira bifo byabwe okugenda okuvuganya mu byobufuzi.

‘TUMWANIRIZZA'

Joel Senyonyi, omwogezi w'ekisinde kya People Power yagambye nti baaniriza buli muntu ayagala enkyukakyuka mu ggwanga era mu mutima ogwo baaniriza Seya n'omutima gumu.

Kyokka Seya waakusanga obulippo mu lwokaano luno omuli n'akoobutaba na mugongo. Yaliko mu DP n'agivaamu ne yeegatta ku SDP, ate oluvannyuma n'awagirako Museveni mu kulonda okuwedde. Mu 2016 bwe yaggyayo empapula z'okwesimbawo teyazizzaayo.

ABAAGALA OKUVUGANYIZA MU PEOPLE POWER BAWEZE 850

Emannuel Kazimbwe Bukenya, ssaabawandiisi w'akakiiko k'ebyokulonda mu People Power yategeezezza nti bannabyabufuzi abasoba mu 850 bamaze okukomyawo empapula zaabwe nga balaga ebifo bye baagala ate abasoba mu 2,000 baggyeeyo empapula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...