TOP

Abaana mubasseeko kafi yu okubakuuma

Added 15th July 2020

Omwana nga yeesuuba.

Omwana nga yeesuuba.

ABAANA mubakolere kafi yu ey'emisana baleme kutangatanga ku kyalo, engeri abasinga gye mwazzeeyo ku mirimu. Ennaku zino bw'otambula ku kyalo osanga abaana bangi abataayaaya kubanga tewakyali abagambako. Jjukira babadde nnyo awaka ng'entambula y'olukale tewali.

Kati balina amaddu okwagala okulaba ku bitundu bwe bifaanana. Kubanga waliwo ababanyumiza nga bwe bikyuse mu biseera bya Corona abadde akunta.

Kati nno abazadde mulina okussizaawo abaana bano kafi yu ow'emisana basiibeeko awaka muleme kukuuma lubugo nga lubaale mubbe.

Kubanga eyo gye batambulira eriyo obulabe ate bungi ng'oggyeeko okugwa mu mannyo ga ssennyiga ono omukambwe agazizzaawo ensi yonna. Abamu nno batoloka butolosi nga n'awaka tebasibyewo.

Kubanga baba tebaagala kulaga kifaananyi nti bagenda walako. Ate oluusi baba basuubira nti bajja kudda mangu. Olulala nga baagala ne bw'oba nga obasoose okudda, oleme kulowooza nti babadde bagenze walako.

Wabula nga bajja kukuwoleza nga bwe babadde wali ku muliraano nga bagenze eri bannaabwe kusabayo ku bitabo basomemu; ate naawe ky'ojja okukkiriza.

Naye mu kino bo bennyini baba beeteeka mu bulabe, awaka balekawo nnagalaale ekiwa bakyalakimpadde omwagaanya ate ne bato banne be wamulekedde okulabirira, baba tebafunyeemu.

Embeera eno w'etumaliddemu ng'akubuuliza ewala, kwe kuba nti ate n'abazadde engeri gye baakadda ku mirimu (ku egyo egigguddewo), amaanyi gonna bagatadde mu kunoonya ssente.

Tebannafaayo nnyo kusoma mbeera gye basanga awaka nga bazzeeyo okulaba ebibaddewo nga tebaliiwo. Naye ng'ekyandibadde ekyamazima, kye kya buli maka okussa kafi yu ku baana baago abakugira okutambula emisana.

Kyokka ng'ate bwe mwegendereza kubanga ate n'okubasibira mu bikomera (eri amaka agabirina) tekiba kirungi nnyo. Kuba wayinza okubaawo obuzibu nga ennyumba okukwata omuliro ng'abaana tebalina na we bayita kwetaasa kufuluma.

Luno nno olutalo kati abazadde lwe balina okulwana ng'oggyeeko olw'okuzuukusanga abaana ku makya babeeko bye bakola; baleme kusiiba mu buliri kuba kino kibafuula engajaba. Kale nno abazadde eyo nsonga mugitunulemu.

Kubanga omwana atangatanga ku kyalo atama. Bw'aba tagudde ku buzibu nga ye, gy'agwira mu buzzi bw'emisango, eηηambo, emize ng'okunywa enjaga egijja okumwonoona batuuke okuddayo okusoma, essomero limugobe nga tebakyasobola mpisa ze.

ABAANA mubakolere kafi yu
ey'emisana baleme kutangatanga
ku kyalo, engeri abasinga
gye mwazzeeyo ku mirimu.
Ennaku zino bw'otambula
ku kyalo osanga abaana bangi
abataayaaya kubanga tewakyali
abagambako.
Jjukira babadde nnyo awaka
ng'entambula y'olukale tewali.
Kati balina amaddu okwagala
okulaba ku bitundu bwe
bifaanana. Kubanga waliwo
ababanyumiza nga bwe bikyuse
mu biseera bya Corona abadde
akunta.
Kati nno abazadde mulina
okussizaawo abaana bano
kafi yu ow'emisana basiibeeko
awaka muleme kukuuma
lubugo nga lubaale mubbe.
Kubanga eyo gye batambulira
eriyo obulabe ate bungi ng'oggyeeko
okugwa mu mannyo
ga ssennyiga ono omukambwe
agazizzaawo ensi yonna.
Abamu nno batoloka butolosi
nga n'awaka tebasibyewo.
Kubanga baba tebaagala kulaga
kifaananyi nti bagenda walako.
Ate oluusi baba basuubira nti
bajja kudda mangu. Olulala
nga baagala ne bw'oba nga
obasoose okudda, oleme kulowooza
nti babadde bagenze
walako. Wabula nga bajja kukuwoleza
nga bwe babadde wali
ku muliraano nga bagenze eri
bannaabwe kusabayo ku bitabo
basomemu; ate naawe ky'ojja
okukkiriza.
Naye mu kino bo bennyini
baba beeteeka mu bulabe,
awaka balekawo nnagalaale
ekiwa bakyalakimpadde omwagaanya
ate ne bato banne be
wamulekedde okulabirira, baba
tebafunyeemu.
Embeera eno w'etumaliddemu
ng'akubuuliza ewala, kwe
kuba nti ate n'abazadde engeri
gye baakadda ku mirimu (ku
egyo egigguddewo), amaanyi
gonna bagatadde mu kunoonya
ssente. Tebannafaayo nnyo
kusoma mbeera gye basanga
awaka nga bazzeeyo okulaba
ebibaddewo nga tebaliiwo.
Naye ng'ekyandibadde
ekyamazima, kye kya buli maka
okussa kafi yu ku baana baago
abakugira okutambula emisana.
Kyokka ng'ate bwe mwegendereza
kubanga ate n'okubasibira
mu bikomera (eri amaka
agabirina) tekiba kirungi nnyo.
Kuba wayinza okubaawo obuzibu
nga ennyumba okukwata
omuliro ng'abaana tebalina na
we bayita kwetaasa kufuluma.
Luno nno olutalo kati abazadde
lwe balina okulwana
ng'oggyeeko olw'okuzuukusanga
abaana ku makya babeeko
bye bakola; baleme kusiiba
mu buliri kuba kino kibafuula
engajaba.
Kale nno abazadde eyo nsonga
mugitunulemu. Kubanga
omwana atangatanga ku kyalo
atama. Bw'aba tagudde ku
buzibu nga ye, gy'agwira mu
buzzi bw'emisango, eηηambo,
emize ng'okunywa enjaga
egijja okumwonoona batuuke
okuddayo okusoma, essomero
limugobe nga tebakyasobola
mpisa ze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...