TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaami temusirika nga bakyala bammwe babatulugunya awaka

Abaami temusirika nga bakyala bammwe babatulugunya awaka

Added 15th July 2020

Ronnah Naturinda ng’asomesa abaami.

Ronnah Naturinda ng’asomesa abaami.





 

Nnaalongo Ruth Muguta akola mu minisitule y'ekikula ky'abantu bwe yabadde ayogerako mu lukiiko lw'abaami abeegatira mu kibiina kya Mens Forum Against Domestic Violence nga bali wamu n'ekitongole kya Pepfar okutema empenda okumalawo obutabanguko mu maka n'okulwanyisa obulwadde bwa siriimu, yategeezezza nti okuva kalantiini lwe yatandika amaka mangi gatabanguse.

Yagambye nti kiva kukuba nti abasajja bangi babaddenga banyigirizibwa bakyala baabwe naye nga batya okwogera n'okuswala mu bannaabwe era bangi batuuka n'okukubwa ne basirika.

Baabadde mu bimuli bya Akamwesi Gardens e Kyebando Rauben Muhabuzi akulira ekibiina kino yategeezezza nti ekigendererwa ky'ekibiina kino kya kumanyisa na kubangula basajja okulwanyisaamu obutabanguko mu maka n'engeri gye bayinza okulwanyisaamu akawuka ka siriimu.

Akola ku nsonga z'amaka ku poliisi y'e Kawempe, Ronnah Naturinda yategeezezza nti ekimu ku bisinze okuviirako obutabanguko mu maka kwekuba nti abaami abasinga basuulawo obuvunaanyizibwa bwabwe awaka ate nga tebaagala kubagambako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...