TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Famire y'omusama amansa ssente ekkirizza aziikibwe mu limbo e South Afrika

Famire y'omusama amansa ssente ekkirizza aziikibwe mu limbo e South Afrika

Added 15th July 2020

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe nkya. Agenda kuziikibwa mu limbo y’e wesdtene e Millville mu kibuga Johannesburg eky’e South Afrika. Sendawula yafudde corona ku Lwomukaaga nga y’omu ku babadde bamanyiddwa mu kumansa ssente mu Kampala.

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.







Yali omu ku ‘kikoosi' kya Ivan Semwanga eyafa mu May wa 2017. Aba ffamire okusalawo bwe bati kyaddiridde olukiiko olwasoose okutuula e South Africa, mikwano gy'omugenzi mwe baasabidde aba famire babakkirize bamwokye waakiri aba ffamire babaleetere evvu lye baba baziika.

Samuel Bazibu muto wa Junior eggulo ku Lwokubiri yategeezezza nti mu lukiiko olwatudde e Kibuzi- Kayunga e Bugerere bakkiriziganyizza nti omugenzi aziikibwe mu limbo kuba baabadde n'essuubi nti embeera bw'eritereera, balisobola okuziikula amagumba ne bagazza ku butaka.

Ku Mmande, olukiiko lwa abadde tabimubuuza. Ku bannamwandu ba Sendawula, kuliko ow'e Kiteezi gw'alinamu abaana babiri ssaako ow'e South Africa gw'alinamu omwana omu.

Okusinziira ku mpapula ezaalabiddwako muganda w'omugenzi Samuel Bazibu, nnamwandu w'e Uganda, omugenzi Ssendawula talina we yamussa yadde okumwebuuzaako era ebigenda mu maaso naye abisomera mu Bukedde.

Ku bimu ku byobugagga Bukedde bye yategeddeko kuliko amaka e Kiteezi, e Kayunga, ennyumba epangisibwa e Buziga, emmotoka ezikola takisi so ng'era abadde azimba ennyumba n'azitunda. E South Afrika abadde alinayo amaka ne bizinensi y'okutunda n'okusuubula mmotoka.

Miti yategeezezza nti mu kiseera kino ku nsonga z'ebyobugagga, balindiridde nnamwandu w'e South Afrika kyokka nga mu kiseera kino naye embeera ya kalantiini yamusalako.

Ffamire lwazzeemu okutuula kyokka ku mulundi guno ensonga enkulu yabadde ya kuzuula bya bugagga n'emmaali y'omugenzi endala gye yaleese n'okulaba engeri ebyobugagga bwe gyebigenda okukwatibwamu.

Kino kyaddiridde ffamire okutegeezebwa nti ng'oggyeeko ebyobugagga bye yali yababuulirako, omugenzi abadde n'ebintu ebirala by'abadde akola yekka ate ebirala n'abikola ne mikwano gye.

Olukiiko luno lwetabiddwaamu ne looya w'omugenzi aba ffamire gwe baaganyi okwatuukiriza amannya eyabategeezezza nga bw'alina olukalala lw'ebyobugagga n'ebiwandiiko by'omugenzi bye yamuteresa.

Bazibu yagambye nti looya yasabye ffamire yaabwe bagira babuuzaako n'abantu abalala be bateebereza okuba nga bamanyi ku bintu by'omugenzi nga mu bano mulimu n'omuyimbi Leila Kayondo.

Jamil Miti munywanyi w'omugenzi bwe babadde bakola bombi e South Africa yategeezezza nti omugenzi alina ebintu bingi by'abadde akoze nga biri Kampala.

Abadde akozesa aba ffamire ye ssaako n'emikwano gye omuli n'omuyimbi Leila Kayondo. Leila bwe twamutuukiridde yategeezezza nti omukwano gwabwe gubadde gwa bulijjo nga teguyingizibwamu bizinensi yadde okumubuulirako ku by'akola era naye

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde
ku nsonga z'omuvubuka wa
‘Rich Gang' Luke Junior Ssendawula
lwasazeewo aziikibwe nkya.
Agenda kuziikibwa mu limbo y'e
wesdtene e Millville mu kibuga
Johannesburg eky'e South Afrika.
Sendawula yafudde corona
ku Lwomukaaga nga y'omu ku
babadde bamanyiddwa mu
kumansa ssente mu Kampala. Yali
omu ku ‘kikoosi' kya Ivan Semwanga
eyafa mu May wa 2017.
Aba ffamire okusalawo bwe bati
kyaddiridde olukiiko olwasoose
okutuula e South Africa, mikwano
gy'omugenzi mwe baasabidde aba
famire babakkirize bamwokye
waakiri aba ffamire babaleetere
evvu lye baba baziika.
Samuel Bazibu muto wa
Junior eggulo ku Lwokubiri
yategeezezza nti mu lukiiko olwatudde
e Kibuzi- Kayunga e
Bugerere bakkiriziganyizza nti
omugenzi aziikibwe mu limbo
kuba baabadde n'essuubi nti
embeera bw'eritereera, balisobola
okuziikula amagumba ne
bagazza ku butaka.
Ku Mmande, olukiiko lwa
abadde tabimubuuza.
Ku bannamwandu ba Sendawula,
kuliko ow'e Kiteezi gw'alinamu
abaana babiri ssaako ow'e South
Africa gw'alinamu omwana omu.
Okusinziira ku mpapula ezaalabiddwako
muganda w'omugenzi
Samuel Bazibu, nnamwandu w'e
Uganda, omugenzi Ssendawula
talina we yamussa yadde okumwebuuzaako
era ebigenda mu maaso
naye abisomera mu Bukedde.
Ku bimu ku byobugagga
Bukedde bye yategeddeko kuliko
amaka e Kiteezi, e Kayunga, ennyumba
epangisibwa e Buziga,
emmotoka ezikola takisi so
ng'era abadde azimba ennyumba
n'azitunda. E South Afrika abadde
alinayo amaka ne bizinensi
y'okutunda n'okusuubula mmotoka.
Miti yategeezezza nti mu kiseera
kino ku nsonga z'ebyobugagga,
balindiridde nnamwandu w'e
South Afrika kyokka nga mu
kiseera kino naye embeera ya
kalantiini yamusalako.
ffamire lwazzeemu okutuula kyokka
ku mulundi guno ensonga enkulu
yabadde ya kuzuula bya bugagga
n'emmaali y'omugenzi endala gye
yaleese n'okulaba engeri ebyobugagga
bwe gyebigenda okukwatibwamu.
Kino kyaddiridde ffamire okutegeezebwa
nti ng'oggyeeko ebyobugagga
bye yali yababuulirako, omugenzi
abadde n'ebintu ebirala by'abadde
akola yekka ate ebirala n'abikola ne
mikwano gye.
Olukiiko luno lwetabiddwaamu ne
looya w'omugenzi aba ffamire gwe
baaganyi okwatuukiriza amannya
eyabategeezezza nga bw'alina olukalala
lw'ebyobugagga n'ebiwandiiko
by'omugenzi bye yamuteresa. Bazibu
yagambye nti looya yasabye ffamire
yaabwe bagira babuuzaako n'abantu
abalala be bateebereza okuba nga
bamanyi ku bintu by'omugenzi nga
mu bano mulimu n'omuyimbi Leila
Kayondo.
Jamil Miti munywanyi w'omugenzi
bwe babadde bakola bombi e South
Africa yategeezezza nti omugenzi
alina ebintu bingi by'abadde akoze
nga biri Kampala. Abadde akozesa
aba ffamire ye ssaako n'emikwano
gye omuli n'omuyimbi Leila Kayondo.
Leila bwe twamutuukiridde
yategeezezza nti omukwano gwabwe
gubadde gwa bulijjo nga teguyingizibwamu
bizinensi yadde okumubuulirako
ku by'akola era naye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...