TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Aceng agaanye okwetonda ku by'okukung'aanya abantu ng'agenda okwewandiisa

Minisita Aceng agaanye okwetonda ku by'okukung'aanya abantu ng'agenda okwewandiisa

Added 16th July 2020

MINISITA w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng agambye nti tasobola kwetonda olw’akatambi akaafuluma ng’akungaanyizza abantu mu disitulikiti y’e Lira ekikontana n’ebiragiro ebyateekebwawo okutangira okusaasaana kwa Corona.

Minisita Aceng

Minisita Aceng





Bino Aceng abyogeredde mu nkuubo za Palamenti oluvannyuma lw'okulabikako mu kakiiko ka Palamenti ak'ebyobulamu akakubirizibwa omubaka Micheal Bukenya (Bukuya County). Abadde azze kwogera ku nsonga z'omusaayi ogukendedde mu tterekero.

Aceng agambye nti abantu okukung'aana yali takitegese yalabiraawo nga baweze bangi ate nga bakyamuse olw'okulaba ku muwala waabwe (Maama Corona) nga yali tasobola kubayitira Poliisi kubanga kyandirabise bubi.

Annyonnyodde nti abantu bano yali abayigiriza ngeri gye bambalamu masiki kwe kujjako eyiye abasomese bulungi ate mu katambi nga batambulira mu nnyiriri bakutte n'amatabi g'emiti, yagambye nti ye wano yali ayambadde masiki wabula yeewunya emikutu gy'amawulire egisazeewo obutasengejja bulungi katambi kano ne basalawo okumulwanyisa.

Wabula yagambye nti ebyaliwo byonna yabifunamu eky'okuyiga nti nga tannaba kuddayo mu bantu be alina okusooka okubateekateeka beewe bulungi amabanga ate nga bambadde masiki n'asaba bannabyabufuzi abalala nabo okukola bwe batyo okusinga okulemerako nti bagenda kukuba enkung'aana nga beekwasa akatambi ke baalaba.

Bino we bijjidde nga Aceng yalangirira dda nga bw'agenda okwesimbawo ku kifo ky'omubaka omukyala owa disitulikiti y'e Lira.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...