TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensonga lwaki aba Nabilah baalwanye n'aba Lukwago ku kitebe kya FDC

Ensonga lwaki aba Nabilah baalwanye n'aba Lukwago ku kitebe kya FDC

Added 16th July 2020

ABAWAGIZI ba Erias Lukwago abaabadde mu mijoozi gya FDC baawalabanyizza Nabilah Naggayi n’abawagizi nga bwe babagamba nti: Ekifo kya Loodi Meeya kya Lukwago ssi Nabilah.

Nabilah ng’alaga empapula ze. Ku ddyo, Nabilah ng’alaga empapula ze.

Nabilah ng’alaga empapula ze. Ku ddyo, Nabilah ng’alaga empapula ze.
Olwo Nabilah yabadde agenze kuzzaayo mpapula eziraga nga bwe yeewandiisizza okuvuganya ku bwa Loodi Meeya wa Kampala ku kkaadi ya FDC. FDC ne Lukwago balina enkwatagana ey'enjawulo era ne mu kalulu ka 2016, FDC yasalawo obutasimbawo muntu ku kifo ekyo, n'ewagira Lukwago. Abaali baagala ekifo, bonna baabagana era enkwatagana eno yeeyongera okunywera, Besigye bwe yalangirira Lukwago ng'omumyuka we mu "gavumenti" gye yatondawo gye yatuuma People's Government.

Lukwago ne Nabilah bamaze emyaka 15 nga tebakwatagana mu byobufuzi era enfunda ssatu Nabilah z'avuganyizza ku kifo ky'omubaka omukyala owa Kampala, Lukwago abadde awagira bantu balala ku kifo ekyo.

Ebyo byebimu ku byavuddeko abawagizi ba Lukwago okumuwalabanya nga bamugoba ku kitebe. Abamu obwedda bakimussaako nga bwe yalya mu FDC olukwe era atakyatambulira ku miramwa gya kibiina era ne bagattako nti wadde Lukwago teyeewandiisanga nga mmemba wa FDC, by'akola biri ku miramwa gya kibiina n'oludda oluvuganya gavumenti era okukkakkana ng'enguumi enyoose.

Nabilah yabadde awerekeddwaako bakanyama, era empapula ze yazikwasizza akulira akakiiko k'ebyokulonda mu FDC, Boniface Toterebuka Bamwenda, kyokka n'azimugobya ng'agamba nti okuggyayo n'okuzzaayo empapula eri abagenda okwesimbawo mu kalulu ka 2021, kwakomekkerezeddwa ku Lwokubiri, nga July 14, 2020.

Bamwenda, era yabuuzizza Nabilah eyamuwa empapula z'okwesimbawo mu FDC, ate nga bo ng'ekibiina tebazimuwangako. Okugenda kwa Nabilah, ku kitebe kya FDC, Ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda mu FDC yakuyise kubajooga nti kuba abadde amaze ebbanga nga yeesamba emirimu gy'ekibiina.

Nabilah, eyabadde anekaanekanye mu byambalo ebiri mu langi z'ekibiina kya FDC, yamutegeezezza nti, okuggyako nga waliwo ekibiina gwe kisimbyewo ku kifo ky'obwa Loodi Meeya, teri ajja kumulemesa kwesimbawo ku kifo ekyo ku kaadi y'ekibiina. Bwe yalabye nga bagaanyi empapula ze, yaddidde kkopi y'ekibiina n'agissa mu maaso ga Ssentebe w'akakiiko n'asigaza eyiye n'ezokuzza ku disitulikiti, ng'akuumibwa bakanyama.

Yajulizza akalulu ka 2016, n'agamba nti waliwo abaagezaako okumusimbira ekkuuli nga tebaagala yeesimbewo ku kifo ky'omubaka omukyala owa Kampala, wabula n'abakuba kya bugazi era nga ne ku mulundi guno bazzeemu akazannyo ke kamu.

Oluvannyuma yalaze abaamawulire ekiwandiiko ky'ekibiina kya FDC, ekyabadde kiraga nti yakung'aanyizza emikono era y'omu ku bagenda okwesimbawo ku bwa Loodi Meeya.

Kino olwakyogedde abavubuka abawagira Lukwago, ne bamutabukira nga baagala ababuulire gye yaggye empapula z'ekibiina kyabwe. Awo abawagizi ba Lukwago we baakubaganidde n'aba Nabilah era ye bwe yalabye ng'embeera yeeyongera kusajjuka n'ayingira munda mu mmotoka ye ey'ekika kya Mercedes Benz n'agenda nga bw'awera nti, "ng'enda kwesimbawo, ekijja kijje!".

Yakkaatirizza nti teri ajja kumulemesa kwesimbirawo ku kkaadi ya FDC kubanga ekibiina tekirina muntu ku kifo ekyo.

ABAWAGIZI ba Erias Lukwago

abaabadde mu mijoozi gya FDC

baawalabanyizza Nabilah Naggayi

n'abawagizi nga bwe babagamba

nti: Ekifo kya Loodi Meeya kya

Lukwago ssi Nabilah.

Olwo Nabilah yabadde agenze

kuzzaayo mpapula eziraga nga

bwe yeewandiisizza okuvuganya

ku bwa Loodi Meeya wa Kampala

ku kkaadi ya FDC.

FDC ne Lukwago balina enkwatagana

ey'enjawulo era ne mu

kalulu ka 2016, FDC yasalawo

obutasimbawo muntu ku kifo

ekyo, n'ewagira Lukwago. Abaali

baagala ekifo, bonna baabagana

era enkwatagana eno yeeyongera

okunywera, Besigye bwe yalangirira

Lukwago ng'omumyuka we mu

"gavumenti" gye yatondawo gye

yatuuma People's Government.

Lukwago ne Nabilah bamaze

emyaka 15 nga tebakwatagana

mu byobufuzi era enfunda ssatu

Nabilah z'avuganyizza ku kifo

ky'omubaka omukyala owa Kampala,

Lukwago abadde awagira

bantu balala ku kifo ekyo. Ebyo

byebimu ku byavuddeko abawagizi

ba Lukwago okumuwalabanya

nga bamugoba ku kitebe. Abamu

obwedda bakimussaako nga

bwe yalya mu FDC olukwe era

atakyatambulira ku miramwa gya

kibiina era ne bagattako nti wadde

Lukwago teyeewandiisanga nga

mmemba wa FDC, by'akola biri

ku miramwa gya kibiina n'oludda

oluvuganya gavumenti era okukkakkana

ng'e􀁋􀁋uumi enyoose.

Nabilah yabadde awerekeddwaako

bakanyama, era empapula

ze yazikwasizza akulira akakiiko

k'ebyokulonda mu FDC, Boniface

Toterebuka Bamwenda, kyokka

n'azimugobya ng'agamba nti

okuggyayo n'okuzzaayo empapula

eri abagenda okwesimbawo

mu kalulu ka 2021, kwakomekkerezeddwa

ku Lwokubiri, nga

July 14, 2020.

Bamwenda, era yabuuzizza

Nabilah eyamuwa empapula z'okwesimbawo

mu FDC, ate nga bo

ng'ekibiina tebazimuwangako.

Okugenda kwa Nabilah, ku

kitebe kya FDC, Ssentebe

w'akakiiko k'ebyokulonda

mu FDC yakuyise kubajooga nti

kuba abadde amaze ebbanga nga

yeesamba emirimu gy'ekibiina.

Nabilah, eyabadde

anekaanekanye mu byambalo

ebiri mu langi z'ekibiina kya FDC,

yamutegeezezza nti, okuggyako

nga waliwo ekibiina gwe kisimbyewo

ku kifo ky'obwa Loodi Meeya,

teri ajja kumulemesa kwesimbawo

ku kifo ekyo ku kaadi y'ekibiina.

Bwe yalabye nga bagaanyi

empapula ze, yaddidde kkopi

y'ekibiina n'agissa mu maaso ga

Ssentebe w'akakiiko n'asigaza

eyiye n'ezokuzza ku disitulikiti,

􀁑􀀊􀁄􀁉􀁘􀁏􀁘􀁐􀁄􀀃􀁒􀁯􀁌􀁖􀁌􀀃􀁝􀁄􀀃􀀩􀀧􀀦􀀃􀁑􀁊􀀊􀁄􀁎􀁘􀁘􀁐-

wa bakanyama.

Yajulizza akalulu ka 2016,

n'agamba nti waliwo abaagezaako

okumusimbira ekkuuli nga tebaagala

yeesimbewo ku kifo ky'omubaka

omukyala owa Kampala,

wabula n'abakuba kya bugazi era

nga ne ku mulundi guno bazzeemu

akazannyo ke kamu.

Oluvannyuma yalaze

abaamawulire ekiwandiiko ky'ekibiina

kya FDC,

ekyabadde kiraga

nti yaku􀁋􀁋aanyizza

emikono era

y'omu ku bagenda

okwesimbawo

ku bwa Loodi

Meeya.

Kino olwakyogedde

abavubuka

abawagira

Lukwago, ne

bamutabukira nga

baagala ababuulire

gye yaggye empapula

z'ekibiina

kyabwe.

Awo abawagizi

ba Lukwago we

baakubaganidde

n'aba Nabilah

era ye bwe

yalabye ng'embeera

yeeyongera

kusajjuka n'ayingira

munda mu mmotoka

ye ey'ekika kya Mercedes Benz

n'agenda nga bw'awera nti,

"􀁋􀁋enda kwesimbawo, ekijja

kijje!". Yakkaatirizza nti teri ajja

kumulemesa kwesimbirawo ku

kkaadi ya FDC kubanga ekibiina

tekirina muntu ku kifo ekyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...