TOP

Museveni alaze amaanyi ga Kasirye Ggwanga

Added 17th July 2020

PULEZIDENTI Museveni alaze amaanyi ga Maj. Gen. Kasirye Ggwanga mu lutalo olwaleeta gavumenti ya NRA mu buyinza mu 1986.

Omugenzi Kasirye Ggwanga ne Pulezidenti Museveni

Omugenzi Kasirye Ggwanga ne Pulezidenti Museveni

Mu bbaluwa Pulezidenti gye yawandiikidde Bannayuganda n'abazzukulu, yagambye nti baasooka okusisinkana ne Kasirye mu 1983 mu mwezi gw'ateebereza nti gwali gwa August oba September.

Baasisinkana Tweyanze mu ggombolola y'e Ngoma mu disitulikiti y'e Nakaseke. Mu kiseera ekyo abalwanyi ba NRA baali basimbye amakanda mu bitundu by'e Ngoma-Wakyato. Baali baakava mu bitundu by'e Semuto-Kapeeka nga bagezaako okwetereeza oluvannyuma lw'okulumbibwa amagye ga gavumenti.

Mu kiseera ekyo Kasirye Ggwanga yali alwanira mu kibiina ky'abayeekera ekya Uganda Freedom Movement (UFM) abaali bakulemberwa Dr. Andrew Lutaakome Kayiira.

Museveni agamba nti Kasirye okumutuukako yali atambudde olugendo oluwerera ddala kuba okuva e Kampala okutuuka e Tweyanze zisukka mayiro 100. Mu kiseera ekyo tewaali ntambula ya mmotoka.

Kasirye yategeeza Museveni nga bwe yali azze okupima amaanyi g'abayeekera ba NRA kuba yali abawulira buwulizi nti bayeekera okufaanana nga ye.

Eky'okubiri, yamutegeeza nga bwe yalina enkolagana n'Omulangira Mutebi oluvannyuma eyafuuka Kabaka wa Buganda. Kigambibwa nti guno gwali mukisa munene kuba enkolagana eno baali bagyetaaga okusobola okufuna obuwagizi bw'abantu ba Buganda. Baayawukana, Kasirye n'atambula okuddayo mu bitundu by'e Mubende gye yali yasimba amakanda. Oluvannyuma Kasirye yava mu UFM ne yeegatta ku FEDEMU ekyali kikulirwa George Nkwanga.

Mu 1985, Kasirye yeegatta ku NRA era Museveni yattottodde nti ajjukira bulungi ekya Kasirye okutwala abalwanyi be aba FEDEMU okwegatta ku NRA era kino baakikolera Masaka. Mu kiseera ekyo Museveni yali Nairobi mu nteeseganya ne Gavumenti ya Tito Okello ez'okuzza emirembe.

Kasirye bwe yamala okwegatta ku NRA, okulwana kwanyiinyiitira. Baatandika okukola ennumba ez'enjawulo mwe baawambiranga ebyokulwanyisa eby'enjawulo okuva ku magye ga Gavumenti. Ebyaddirira kwali kulumba Kampala era Kasirye y'omu ku baatokosa emmundu eyaddusa amagye ga Gavumenti ne geetegula ekibuga ng'amakanda yali agasimbye ku kasozi Mutundwe.

Lt. Gen Pecos Kutesa mu kitabo kye "Uganda's Revolution 1979-1986, How I saw it" agamba nti Kasirye ye yaduumira ekibinja ekyali kikuba emizinga mu kuwamba Kampala nga kisinziira ku kasozi Mutundwe ate Chefe Ali nga y'aduumira eggye ly'oku ttaka.

Kasirye Ggwanga amwogerako ng'eyaweereza ebikompola ebyasesebbula Summit View e Kololo awaali amagye ge South Korea agaali gapangisiddwa gavumenti. Abayeekera b'oku ttaka we baatuukira nga Kasirye omulimu yagukoze dda era baamala kumutegeeza alekeraawo okuweereza ebikompola kuba baali bamaze okuwamba ate nga ye akyayongera okuweereza ebikompola.

Maj. Roland Kakooza Mutale naye akikkaatiriza nti singa teyali Kasirye Ggwanga n'amaanyi ge yassa mu lutalo ku ssaawa envannyuma, tasuubira nti NRA yandiwambye obuyinza mu January 1986.

Mu kiwandiiko kya Museveni, yagambye nti azze agoberera ebizze biwandiikibwa ku Kasirye n'ebyo bye yategeeza bannamawulire nga tannafa, n'agamba nti bamussaamu ekitiibwa olw'okubeera mwoyo gwa ggwanga.

Yawunzise akungubagira bannamagye n'abantu abagundiivu abafudde gye buvuddeko n'anokolayo eyali kapiteeni wa Cranes, Jimmy Kirunda, bannamagye abalala okuli Brig. Jackson Bell Tushabe, Erica Mukasa, Victor ne Nkeera. Kasirye yafa ku lunaku lw'abazira nga June 9, n'aziikibwa e Nkene - Busujju mu Mityana era omwezi oguwedde Maj. Mutale yagenze n'asulayo ng'akungubagira mulwanyi munne.

Museveni mu bbaluwa ye yamalirizza agamba nti lw'anaddako okuweereza obubaka, agenda kusitukira mu ba LDU abasiiwuuse empisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pasita Musisi n’abazannyi ba Busiro abaasoose mu kkanisa ye e Kaggala, Wakiso ku Ssande.

'Ababaka mulwanirire emizan...

PASITA Paul Musisi, akulira ekkanisa ya Caring Heart Ministries e Kaggala mu Wakiso adduukiridde ttiimu y’essaza...

Abavubuka ba Yellow Power.

Aba Yellow Power baagala Ka...

ABAVUBUKA b'ekisinde kya Yellow Power mu NRM, nga bano bakola gwa kukunga bantu, baagala Ssaabawandiisi  w'ekibiina...

Omuteebi wa Busiro, Usama Arafat ng’asindirira ennyanda ku ggoolo ya Kyaggwe gye yawangula 2-1 mu gy’ebibinja. Eggulo, Busiro yakubye Mawogola 1-0 eggulo okwesogga semi.

Busiro ne Bulemeezi ziri ku...

BULEMEEZI ne Busiro zifungizza okuwangula ekikopo ky'omupiira eky'Amasaza ga Buganda. Bulemeezi yatimpudde Busujju...

Abawagizi ba Pulezidenti Museveni mu Kawempe nga bajaganya ku Akamwesi Gardens e Kyebando.

Bannange mukulike bbookisi

Bannange akalulu akaakubiddwa ku Lwokusatu tekaabadde kangu era abaakawangudde baba basaana kuyozaayozebwa nnyo....

Maama Kisanja (ku ddyo)ng’awaga oluvannyuma ly’okuwangula obululu.

'Maama Kisanja' yeebazizza ...

PENINAH Kabingani Busingye ‘Maama Kisanja' 77, alondeddwa okuba omubaka w'abakadde ba Buganda mu Palamenti asookedde...