
Lipooti eyavudde mu kunoonyereza okwakoleddwa aba Food Rights Alliance ne Twaweza East Africa eraga nti buli bantu 4 osangako omu ng'akola lejjalejja.
Bwe gutuuka mu byalo ne gujabagira ng'abakola egya lejja lejja tegikyalabika ate n'ebirime kwe babadde beesigamye ng'ekkubo ettongole mu nnyingiza yabwe bigudde akatale.
Lipooti eno yayanjuddwa wiiki ewedde nga bayita mu lukung'aana lwa zoomu mu nkola gye batuumye ‘Sauti za Wananchi' ekivvuunulwa nti eddoboozi ly'omuntu wabulijjo.
Lipooti yayanjuddwa Marie Nannyanzi okuva mu Twaweza yategeezezza nti Bannayuganda bangi bafuba okulaba ng'omuntu abeera n'amakubo abiri oba okusingawo agamuyingiriza sente.
Yagambye nti ne mu bibuga gy'oloba abantu nga basing kukola mulimu gya ofiisi ne lejjalejja okuyimirizaawo obulamu era balima eby'okulya n'okutunda.
Abantu ebitundu 22 ku 100 nga bano bakola ekitundu kya muntu 1 ku bantu 5 boosanga mu kibuga bakola mirimu egya lejjalejja.
Okunoonyereza kwakoleddwa ku bantu 1,600 okuva mu bitundu bya Uganda eby'enjawulo wakati wa May ne June. Kino kyabadde kitundu kyakubiri ku lipooti zamirundi esatu ezikoleddwa ku mbeera eriwo mu kiseera ky'omuggalo gwa Corona.

Okunoonyereza kulaga nti Abantu ebitundu 13 ku 100 mu bitundu by'ekibuga bakolera musaala ate mu kyalo abantu 7 ku 100 bebakolera omusaala.
Kyokka abantu ebitundu 16 ku 100 mu byalo bayingiza sente okuva mu bulunzi so nga mu kibuga abafuna mu kulunda bali ebitundu 9 ku 100.
Ekyewuunyisa, buli maka 10 osangako amaka gamulundi 1 ng'obulamu babutambuliza ku buyambi obuva mu benganda mumawanga g'ebweru.
Bano bakola ebitundu 8 ku 100 ate mu byalo amaka 20 osangako ga mulundi 1 abayimirizaawo obulamu nga beesigama ku buyambi obuva ebweru.
Agnes Kirabo akulira Food Rights Alliance yategeezezza nti ebyobulimu ye nkizi ewaniridde obulamu bwa Bannayiganda abasing obungi.
Kyokka ekyennyamiza newankubadde Bannayuganda bangi abatambuliza obulamu ku by'obulimi, tebiweereddwa nsimbi zimala, okufuna obukulembeze obulungi n'okubiteekerateekaera.
Ekiseera kyomuggalo kisaana okukola ng'akabonero akajjukiza gavumenti okuddamu okuwagira eby'obulimi okutuuka ku ttutumu lye byalina. Kubanga bikola kinene okunyweza eby'okwerinda byabantu n'obutebenkevu.