
Ekif: Edna Namara, owa Global Press Journal
Wabula ennyumba ez'okupangisa nnyingi mu bitundu eby'enjawulo naye kyandikubeerera ekizibu ggwe anoonya ennyumba y'okupangisa okufuna gy'oyagala. Kino kivuddeko babbulooka b'amayumba okugufuula omulimu nga kumpi buli kyalo kuliko ofi isi zaabwe.
James Luwagga omu ku babbukooka mu Bweyogerere annyonnyola obukodyo babbukooka abakyamu bwe bakozesa ne bafuna ssente mu bapangisa;
Babbulooka abamu bapaaza ebisale by'ennyumba ng'omupangisa bw'akkiriza banguwa mangu okutemya ku nnannyini nnyumba n'amusaba enjawulo ye oba okugigabana.
Okugeza ennyumba bw'ebeera ya 150,000/- , weekanga bbulooka ayongeddemu 50,000/- nga zino azikima ewa nnannyini nnyumba buli mwezi oba engeri endala yonna gye bakkaanyizza.
Babbulooka olw'okwagala ssente tebafaayo kuwabula mupangisa ebizibu ebibeera ku nnyumba oba ekitundu mweri. Okugeza bayinza okukusasuza ennyumba ng'ebyokwerinda byawo si birungi.
Abalala ennyumba ne bwe zibeera ziyingiramu amazzi mu biseera by'enkuba, babbulooka abalulunkana okufuna ensimbi tebakulabula era bangi bakifunamu kuba omupangisa bw'akizuula ayinza okusenguka olwo ate ng'alina kufuniramu mupangisa omulala.
Waliwo babbulooka abamu abakolagana n'ababbi ng'olumala okusenga wayitawo akaseera katono ne bakuyingirira.
Babbulooka abamu bapanga abantu abalala abeefuula bannannyini mayumba era bwe mukkaanya n'osasula toddamu kubalabako. Omupangisa yandifubyenga okwebuuza ku LC okumanya nnannyini nnyumba omutuufu n'amateeka agaziriko.