TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abantu 400 baagulirira ne baggyibwa mu kalantiini

Abantu 400 baagulirira ne baggyibwa mu kalantiini

Added 20th July 2020

MUNNAYUGANDA eyasiibuddwa okuva mu kalantiini y’e Kabahinda mu disitulikiti y’e Isingiro yagambye nti, waliwo abantu abasoba mu 400 abaakwatibwa nga bayingidde eggwanga mu bumenyi bw’amateeka ne bateekebwa mu kalantiini wabula bano baagulirira abaserikale abakuuma kalantiini ne bafuluma.

Abavuzi ba lukululana e Mutukula baali bawuliriza baminisita abaali boogerako gyebali.

Abavuzi ba lukululana e Mutukula baali bawuliriza baminisita abaali boogerako gyebali.







Nashimolo yagambye nti, akakiiko akaalondebwa okukola ku nsonga za Corona e Namisindwa tekakoze mulimu gwako n'agamba nti, omulimu gw'okutangira okusaasaana kwa Corona baagifuula bizinensi kyokka n'ategeeza nti, ekivuddeko embeera eno, Gavumenti tebawa buyambi bumala.

"Abasuubuzi basasula abeebyokwerinda ssente ne bagenda e Kenya ne basuubula emmaali yaabwe ne bakomawo, tosobola kumanya oba bakomyewo n'obulwadde oba nedda," Wafula ssentebe w'eggombolola y'e Bukhoho bwe yategeezezza.

John Emoit ssentebe w'ekyalo Amoni B, mu ggombolola y'e Malaba yagambye nti, abeebyokwerinda baagaana okukolagana nabo era babalabira ddala ng'ekizibu eri emirimu gyabwe n'agamba nti, kino, kiva ku nguzi.

George William Wopuya ssentebe wa disitulikiti y'e Namisindwa yagambye nti, embeera eri e Kenya, Bannayuganda tebasobola kugigumiinkiriza kye bava baddukayo ne bakola kyonna ekisoboka okuyingira eggwanga.

Olw'ebigambibwa nti, amagye n'abeebyokwerinda balina engeri gye beekobaana n'abantu ne babaggyako ssente ne babaleka okuyingira mu ggwanga, abasasi baffe baatuuseeko ku nsalo e Bugango wabula amagye gaabaggyeeyo na mmundu.

"Twasookedde mu ofi isi y'akulira eby'obukessi ku nsalo BISO (Border Internal Security Offi cer) n'agamba nti, abayingira eggwanga bayita mu ppanya era n'atutwala mu batuuze be tuba twogera nabo wabula twabadde twakatuuka, amagye ne gatusalako ne batuteekako ab'emmundu okukakasa nti, tuva mu kitundu," Omu ku basasi baffe bwe yategeezezza.

Ku nsalo e Kikagate, abatuuze baatutegeezezza nti, abantu abaagala okusala ensalo, basasula wakati wa 200,000/- ne 500,000/- abakuumaddembe ne babaleka. "Wano yafuuka bizinensi ye nnyini, abajaasi ne ssente bazikwata kyere ne baleka abantu ne bagenda," omu ku batuuze bwe yategeezezza.

Abatuuze baaggasseeko nti, abantu abava e Rwanda, Congo, Burundi ne Tanzania bayita ku nsalo okuli Kagera, Nyamarungi, Kamweema, Kyebikubbe, Kasese, Kasensero ne ku mazzi ng'abaserikale babalaba.

MUNNAYUGANDA eyasiibuddwa
okuva mu kalantiini y'e Kabahinda
mu disitulikiti y'e Isingiro yagambye
nti, waliwo abantu abasoba mu
400 abaakwatibwa nga bayingidde
eggwanga mu bumenyi
bw'amateeka ne bateekebwa mu
kalantiini wabula bano baagulirira
abaserikale abakuuma kalantiini ne
bafuluma.
Nashimolo yagambye nti,
akakiiko akaalondebwa okukola ku
nsonga za Corona e Namisindwa
tekakoze mulimu gwako n'agamba
nti, omulimu gw'okutangira
okusaasaana kwa Corona baagifuula
bizinensi kyokka n'ategeeza nti,
ekivuddeko embeera eno, Gavumenti
tebawa buyambi bumala.
"Abasuubuzi basasula abeebyokwerinda
ssente ne bagenda e Kenya
ne basuubula emmaali yaabwe
ne bakomawo,
tosobola kumanya
oba bakomyewo
n'obulwadde
oba nedda,"
Wafula ssentebe
w'eggombolola
y'e Bukhoho bwe
yategeezezza.
John Emoit
ssentebe w'ekyalo Amoni B, mu
ggombolola y'e Malaba yagambye
nti, abeebyokwerinda baagaana
okukolagana nabo era babalabira
ddala ng'ekizibu eri emirimu
gyabwe n'agamba nti, kino, kiva ku
nguzi.
George William Wopuya ssentebe
wa disitulikiti y'e Namisindwa
yagambye nti,
embeera eri
e Kenya, Bannayuganda
tebasobola
kugigumiinkiriza
kye bava
baddukayo ne
bakola kyonna
ekisoboka
okuyingira eggwanga.
Olw'ebigambibwa nti, amagye
n'abeebyokwerinda balina engeri
gye beekobaana n'abantu ne
babaggyako ssente ne babaleka
okuyingira mu ggwanga, abasasi
baffe baatuuseeko ku
nsalo e Bugango wabula
amagye gaabaggyeeyo
na mmundu.
"Twasookedde
mu ofi isi y'akulira
eby'obukessi ku nsalo BISO
(Border Internal Security Offi cer)
n'agamba nti, abayingira eggwanga
bayita mu ppanya era n'atutwala
mu batuuze be tuba twogera nabo
wabula twabadde twakatuuka, amagye
ne gatusalako ne batuteekako
ab'emmundu okukakasa nti, tuva
mu kitundu," Omu ku basasi baffe
bwe yategeezezza.
Ku nsalo e Kikagate, abatuuze
baatutegeezezza nti, abantu abaagala
okusala ensalo, basasula wakati
wa 200,000/- ne 500,000/- abakuumaddembe
ne babaleka.
"Wano yafuuka bizinensi ye
nnyini, abajaasi ne ssente bazikwata
kyere ne baleka abantu ne
bagenda," omu ku batuuze bwe
yategeezezza.
Abatuuze baaggasseeko nti,
abantu abava e Rwanda, Congo,
Burundi ne Tanzania bayita ku
nsalo okuli Kagera, Nyamarungi,
Kamweema, Kyebikubbe,
Kasese, Kasensero ne ku mazzi
ng'abaserikale babalaba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...

Bazadde ba Amos Ssegawa 15, okuli Hajarah Nakitto ne taata we omuto Meddie Ssemugenyi nga bannyonnyola ow’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Juliet Logose engeri gye baatemuddemu omwana waabwe.

Be battidde abantu baabwe m...

MAAMA w'omuyizi wa Lubiri SS- Buloba, Amos Ssegawa 15, eyakubiddwaa essasi ng'ayita mu kibuga wakati mu kwekalakaasa...

Abamasaaba okuva mu disitulikiti ya Sironko ne Bulambuli abaayanirizza Pulezidenti Museveni ku ssomero lya Masaba SSS.

Obujiji n'okubinuka mu kamp...

Kwabadde kubinuka wonna mu ggwanga ng'abeesimbyewo ku bwapuledidenti banoonya akalulu. Bano abawagizi baabwe baabalaze...