TOP

Minisita ayisizza ebiragiro ebipya ku ttaka

Added 20th July 2020

MINISITA w’Ebyettaka Beti Kamya awadde ebiragiro 18 ebirina okugobererwa mu kusengula oweekibanja ku ttaka. Kamya, yabadde ku Media Center n’ategeeza nti, obuzibu we buva abantu okusengulwa ku ttaka nga tebagoberedde mateeka n’agamba nti, poliisi, RDC n’obukiiko bw’ebyalo bwe buvaako obuzibu.

Minisita Beti Kamya

Minisita Beti Kamya





"Ssebo RDC, nnyabo RDC, ssebo oba nnyabo DPC, ssebo ssentebe, singa wanaabaawo abantu abasengulwa mu bukyamu gwe gwe tujja okukwata," Beti Kamya bwe yagambye.

Abantu bangi abasengulwa ku ttaka, babadde beemulugunya ku bitongole by'ebyokwerinda, baminisita, abanene mu magye n'abagagga okuba emabega w'emivuyo ku ttaka nga n'abamu, poliisi, ba RDC n'abakulembeze ku byalo batya okubagambako.

Kamya yagambye nti, ‘Ggwe omuntu yenna bw'ajja okusengula abantu, mubuulire etteeka kye ligamba bw'agaana wandiika lipooti ogimpeereze nze nja kuyita mu minisita we amutwala akolebweko tewali ali waggulu wa mateeka.'

Ebiragiro Kamya bye yawadde yagambye nti, bitandikirawo okukola nga mu bino mulimu; 1 Omuntu yenna ali ku ttaka mu mateeka, alina kusengulwa ng'alemereddwa okusasula busuulu era alina okuweebwa emyezi mukaaga okuva ekiragiro lwe kifulumye ave ku ttaka.

2 Omupangisa ku ttaka ayagala okukyusa okuzza ekifo kye yapangisa mu mikono gy'omuntu omulala ng'omukisa ogusooka taguwadde nnannyini ttaka aba azzizza musango era mu ngeri eyo, aba yeggyeeko olukusa ku ttaka.

3 Nnanyini ttaka bw'atunda ekyapa ne kikyusa obwannannyini, abasangiddwa ku ttaka nga baliko mu mateeka tebateekeddwa kukosebwa.

4 Abapangisa ku ttaka, batwalibwa nti, bapangisa ba nnannyini ttaka amanyiddwa mu mateeka wadde nga tebalina bwannannyini ku kyapa.

5 Okusengula abantu kwonna kuteekeddwa kukolebwa nga waliwo ekiragiro kya kkooti nga kirambika bulungi n'abalina okusengula abantu.

6 Poliisi n'abakulembeze b'ebyalo bateekeddwa okutegeezebwa nga bagenda okusengula abantu ne babeerawo.

7 Okusengula abantu kuteekeddwa okugoberera amateeka agafuga eddembe ly'obuntu era tewateekeddwa kubeerawo muntu alumizibwa.

8 Abakazi, abaana, abaliko obulemu n'abakadde bateekeddwa okuweebwa obukuumi singa wabaawo okusengula abantu ku ttaka.

9 Wannyondo wa kkooti asengula abantu, alina okutereka ebintu by'omuntu gw'asengudde okumala ennaku 14 singa aba talina waakubiteeka.

10 Abantu abagenda okusengulwa ku ttaka, balina okuweebwa olukusa okwemenyera obuyumba bwabwe obuba bwazimbibwa mu bukyamu.

11 Okusengula abantu kulina kukolebwa wakati w'essaawa 2:00 ez'oku makya n'essaawa 12:00 ez'akawungeezi.

12 Ng'okusengula abantu tekunnabaawo, wateekeddwa okubeerawo ekiragiro kya kkooti ekiraga amannya g'omuntu ateekeddwa okusengulwa oba ebikwata ku kizimbe ekirina okumenyebwa. 13 Omuntu agenda okusengulwa ateekeddwa okuba nga yaweebwa okulabulwa.

14 Okulabula eri abagenda okusengulwa kulina okubaamu ebikwata ku ttaka kwe basengulwa n'ensonga ebasenguza.

15 Okulabula kw'okusengula abantu kuteekeddwa okuyisibwa mu mikutu gy'amawulire mu nnimi abantu ze bategeera obulungi.

16 Ekiragiro ky'okusengula abantu kirina okubaamu amannya g'abo abateekeddwa okusengulwa n'olunaku lwe balina okusengukirako.

17 Wannyondo wa kkooti bw'amaliriza okusengula abantu, alina okuddayo mu kkooti n'agitegeeza ebivudde mu mulimu ogwamuwebwa.

18 Ekiragiro kya kkooti kiteekeddwa okulaga ebikwata ku muntu asengula omulala ku ttaka.

MINISITA w'Ebyettaka Beti Kamya awadde
ebiragiro 18 ebirina okugobererwa mu
kusengula oweekibanja ku ttaka. Kamya,
yabadde ku Media Center n'ategeeza nti,
obuzibu we buva abantu okusengulwa
ku ttaka nga tebagoberedde mateeka
n'agamba nti, poliisi, RDC n'obukiiko
bw'ebyalo bwe buvaako obuzibu.
"Ssebo RDC, nnyabo RDC, ssebo oba
nnyabo DPC, ssebo ssentebe, singa wanaabaawo
abantu abasengulwa mu bukyamu
gwe gwe tujja okukwata," Beti Kamya bwe
yagambye.
Abantu bangi abasengulwa ku ttaka,
babadde beemulugunya ku bitongole
by'ebyokwerinda, baminisita, abanene
mu magye n'abagagga okuba emabega
w'emivuyo ku ttaka nga n'abamu, poliisi,
ba RDC n'abakulembeze ku byalo batya
okubagambako.
Kamya yagambye nti, ‘Ggwe omuntu
yenna bw'ajja okusengula abantu, mubuulire
etteeka kye ligamba bw'agaana wandiika
lipooti ogimpeereze nze nja kuyita
mu minisita we amutwala akolebweko
tewali ali waggulu wa mateeka.'
Ebiragiro Kamya bye yawadde yagambye
nti, bitandikirawo okukola nga mu bino
mulimu;
1 Omuntu yenna ali ku ttaka mu mateeka,
alina kusengulwa ng'alemereddwa
okusasula busuulu era alina okuweebwa
emyezi mukaaga okuva ekiragiro lwe kifulumye
ave ku ttaka.
2 Omupangisa ku ttaka ayagala okukyusa
okuzza ekifo kye yapangisa mu mikono
gy'omuntu omulala ng'omukisa ogusooka
taguwadde nnannyini ttaka aba azzizza
musango era mu ngeri eyo, aba yeggyeeko
olukusa ku ttaka.
3 Nnanyini ttaka bw'atunda ekyapa ne
kikyusa obwannannyini, abasangiddwa ku
ttaka nga baliko mu mateeka tebateekeddwa
kukosebwa.
4 Abapangisa ku ttaka, batwalibwa nti,
bapangisa ba nnannyini ttaka amanyiddwa
mu mateeka wadde nga tebalina bwannannyini
ku kyapa.
5 Okusengula abantu kwonna
kuteekeddwa kukolebwa nga waliwo
ekiragiro kya kkooti nga kirambika bulungi
n'abalina okusengula abantu.
6 Poliisi n'abakulembeze b'ebyalo
bateekeddwa okutegeezebwa nga bagenda
okusengula abantu ne babeerawo.
7 Okusengula abantu kuteekeddwa
okugoberera amateeka agafuga eddembe
ly'obuntu era tewateekeddwa kubeerawo
muntu alumizibwa.
8 Abakazi, abaana, abaliko obulemu
n'abakadde bateekeddwa okuweebwa obukuumi
singa wabaawo okusengula abantu
ku ttaka.
9 Wannyondo wa kkooti asengula
abantu, alina okutereka ebintu by'omuntu
gw'asengudde okumala ennaku 14 singa
aba talina waakubiteeka.
10 Abantu abagenda okusengulwa ku
ttaka, balina okuweebwa olukusa okwemenyera
obuyumba bwabwe obuba bwazimbibwa
mu bukyamu.
11 Okusengula abantu kulina kukolebwa
wakati w'essaawa 2:00 ez'oku makya
n'essaawa 12:00 ez'akawungeezi.
12 Ng'okusengula abantu tekunnabaawo,
wateekeddwa okubeerawo ekiragiro
kya kkooti ekiraga amannya g'omuntu
ateekeddwa okusengulwa oba ebikwata ku
kizimbe ekirina okumenyebwa.
13 Omuntu agenda okusengulwa
ateekeddwa okuba nga yaweebwa
okulabulwa.
14 Okulabula eri abagenda okusengulwa
kulina okubaamu ebikwata ku ttaka
kwe basengulwa n'ensonga ebasenguza.
15 Okulabula kw'okusengula abantu
kuteekeddwa okuyisibwa mu mikutu
gy'amawulire mu nnimi abantu ze bategeera
obulungi.
16 Ekiragiro ky'okusengula
abantu kirina okubaamu amannya
g'abo abateekeddwa
okusengulwa n'olunaku lwe
balina okusengukirako.
17 Wannyondo wa
kkooti bw'amaliriza
okusengula abantu, alina
okuddayo mu kkooti
n'agitegeeza ebivudde
mu mulimu ogwamuwebwa.
18 Ekiragiro kya
kkooti kiteekeddwa
okulaga ebikwata
ku muntu asengula
omulala ku
ttaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....