TOP

Ebizuuse ku wa People Power eyafudde

Added 20th July 2020

Akanyoolagano k’abawagizi ba People Power ne poliisi kaatuuse ne mu kuziika nga bakalambidde nti poliisi ye yamutomedde mu bugenderevu n’emutta olw’endowooza ye ey’ebyobufuzi.

Aba People Power ku ddwaaliro e Kawolo. Mu katono ye Mutyabule eyattiddwa mu kanyoolagano ne Poliisi

Aba People Power ku ddwaaliro e Kawolo. Mu katono ye Mutyabule eyattiddwa mu kanyoolagano ne Poliisi

BYA MUKASA KIVUMBI

Waabaddewo akanyoolagano wakati wa poliisi n'abawagizi ba People Power eggulo e Kamuli era abakungubazi baakasukidde poliisi amayinja eyabadde egezaako okukugira abantu abangi okwetaba mu kuziika era abamu ku baziisi omuli n'abaabadde bavudde e Kampala tebaabakkirizza kutuuka we baaziise.

Aba People Power balumiriza nti munnaabwe Charles Mutyabule yatomeddwa mmotoka ya poliisi nti era enfa ye teyawukana na ya Ritah Nabukenya. Sauda Madaada owa People Power agamba nti yabaddewo nga batomera Mutyabule era yattottodde nti baamutomeredde Ssanga mu Mabira nga bava e Jinja.

"Emmotoka yazze etugoba okuva e Jinja era twagenze okulaba ng'eremedde ku mwana omu n'ekyaddiridde kumulinnya n'emuyitako." Madaada bwe, n'agattako nti mu kiseera ekyo, Bobi Wine yabadde ali mu maaso n'ebyabaddewo teyasoose kubitegeera. Sauda Madaada yalambuludde nti: Abaserikale ba poliisi bwe baamaze okutomera munnaffe, ne bayimirira mu maaso.

Twayanguye okutuuka munnaffe we yabadde ne tumuyoolayoola okumutwala mu ddwaaliro e Kawolo, naye ng'embeera ye mbi nnyo. Okutu okumu kwabadde kukutuseeko era ng'avaamu omusaayi mungi. Yabadde n'ekiwundu ekinene ku mutwe era nga n'ebitundu ebirala bibunye omusaayi. Madaada yayongeddde okuttottola nti: Mutyabule yafiiridde mu bulumi kyokka nga mugumu.

Nga twakamutuukako, yafunyizza ekikonde n'awanika omukono mu bbanga n'atugamba nti, "Mube bagumu, nkyali mulamu era tulina okwambala engule". Bwe yamaze okwogera ebigambo ebyo teyazzeemu kwogera era twabadde twakamutuusa mu ddwaaliro e Kawolo, n'akutuka.

Kyokka omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Ssezibwa, Hellen Butoto yagambye nti, eyatomedde Mutyabule teyabadde mmotoka ya poliisi wabula yabadde Double Cabin eyabadde eva e Kampala ng'edda e Jinja nti kyokka ebyembi tebaasobodde kutegeera nnamba ya mmotoka (number plate).

George Tebusibwa yagambye nti Mutyabule abadde asoma S.6 mu MM College e Jinja, wabula amasomero bwe gaggalwa nti kwe kuyingira omulimu gwa bodaboda. Kigambibwa nti oluvannyuma lwa Pulezidenti okulagira bodaboda okugira nga zitambuza bitereke byokka, Mutyabule yeegatta ku kibiina ky'aba bodaboda ekiyitibwa Freedom Boda ekirwanirira bodaboda okuddamu okusaabaza abantu era ab'ekibinja ekyo nga kati basaasaanidde eggwanga be bamu ku baabadde batambulidde ku Bobi Wine nga bali mu mijoozi emimyufu.

Aba Freedom Boda be beesiba enjegere nga June 25, 2020 ku Clock Tower nga bagezaako okutwala ekiwandiiko kyabwe mu palamenti nga beemulugunya ku kugaanibwa okusaabaza abantu.

Oluvannyuma poliisi yagamba nti be baali n'emabega w'obulumbaganyi obwakolebwanga ku mmotoka za gavumenti wakati wa May ne June.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...