TOP

Abaakadodi bakubye abaserikale 4 e Manafa

Added 20th July 2020

ABANTU ababadde bazina akadodi bataayizza abaserikale ba Poliisi bana ne babakuba ne baweebwa ebitanda.

OC Wakasero mu ddwaaliro. Ku ddyo be banne abalala abaakubiddwa.

OC Wakasero mu ddwaaliro. Ku ddyo be banne abalala abaakubiddwa.





Kyaddiridde abaserikale bano abaabadde n'emmundu bbiri n'obukebe bwa ttiyaggaasi okusanga ekibinja ky'abantu nga bazina akadodi e Bugisu ne babalagira okukikomya era beewe n'amabanga okwewala okwesiiga obulwadde bwa Corona kyokka ne bagaana.

Ekyaddiridde, abaserikale baatandise okukuba tiyaggaasi ne basaasana kyokka bwe yabaweddeko abaabadde bazina akadodi ne beekolamu omulimu ne basalako abaserikale bano ne babaggyako emmundu ne batandika okubakuba emiggo n'okubafumita okutuusa lwe babamazeemu amaanyi oluvannyuma ne badduka.

Abaakubiddwa baserikale okuva ku poliisi y'e Kaato mu disitulikiti y'e Manafa. Abatuuze bano baabadde bavudde mu byalo okuli Kaato, Namakhele, Bumukhama ne Bunabutsale.

Abaakubiddwa kuliko OC wa poliisi y'e Kaato, eyabadde akuliddemu poliisi ASP Wakasero David, Sgt. Okiriya Ochom, Cpl. Kasakya ne David Bameka abaatwaliddwa mu ddwaaliro e Bududa gye baabaggye oluvannyuma ne batwalibwa mu ddwaaliro eddene e Mbale. Mu kulwanagana kuno, Bernard Shimanya ne Werikhe Rogers abaalumiziddwa.

RDC w'e Manafa, Ahamada Washaki yagambye olw'embeera eyabaddewo tewali mutuuze yakwatiddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Mugisha

Faaza w'e Masaka ayongedde ...

FAAZA Richard Mugisha eyagugumbula abanene mu Gavumenti nga bw'awaana Bobi Wine azzeemu okuta akaka n'alabula...

Omubaka Allan Ssewanyana ng'awayaamu ne bannamateeka be.

Omubaka Ssewanyana ayimbuddwa

OMULAMUZI wa kkooti y'e Makindye Jude Okumu ayimbudde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana n'abawagizi be...

Omugenzi Takia Namijumbi.

Eyali RDC w'e Mityana afudde

HAJATI Takia Namijumbi eyaliko omubaka wa Pulezidenti (RDC) e Mityana n'e Mpigi afudde enkya ya leero. Waafiiridde...

Omugenzi Omulangira Jjuuko

Eyali ssentebe w'omu Kiseny...

OKUZIIKA kw'Omulangira Jjuuko Mutebi abadde ssentebe wa NRM mu Muzaana zzooni mu Kisenyi mu Kampala era eyaliko...

Bobi Wine ng'ali e Kyegegwa.

Nja kumalawo ekibbattaka mu...

MAJ. Gen. Mugisha Muntu owa Alliance for National Transformation (ANT) asuubizza okumalawo ekizibu ky'ekibba ttaka...