TOP

Atabuse ne mukazi we n'atta bbebi n'omusumeeni

Added 20th July 2020

OMUSAJJA afunye obutakkaanya ne mukazi we n’asala omwana waabwe obulago n’amutta. Omwana attiddwa abadde wa mwaka gumu nga ye Abigail Beatrice.

Nabweteme n’omulambo gw’omana we.

Nabweteme n’omulambo gw’omana we.


Nelson Bwambare omutuuze w'e Kabanyoro okumpi ne Gayaza mu disitulikiti y'e Wakiso yafunyemu obutakkaanya ne mukyala we Resty Nabweteme essungu n'alimalira ku mwana waabwe ow'omwaka ogumu.

Ettemu lino we lyabeereddewo eggulo ku Ssande ku ssaawa nga 3:00 ez'oku makya, Nabweteme yabadde agenze kubanja ssente mu bantu be yawola kasooli aviire Bwambare, kwe kusanga omwana ng'afuuwa musaayi.

Yagambye nti, babadde baalemagana ne Bwambare olw'enjaga n'enneeyisa ye era yabadde asazeewo okunoba kyokka bwe yagenze okubanja ssente afune ez'entambula emutuusa ewaabwe, yasanze omwana we asaliddwa obulago.

Kigambibwa nti, Bwambare yakozesezza musumeeni okusala obulago bw'omwana era olwamaze n'adduka. Bwambare yali akola gwa buzimbi wabula olw'embeera ya corona, abadde takyakola era Nabweteme yagambye nti, y'abadde ateteenkanya okufuna ffamire ky'enaalya. Yagasseeko nti, Bwambare abadde talina kintu ky'agula waka kyokka ng'asobola okufuna ezigula enjaga era abadde alina ebbiina ly'abavubuka b'abadde atambula nabo.

Bwe yatuuse ng'omwana asaliddwa obulago, yamututte ku kalwaliro k'oku kyalo ne bamumugobya ng'embeera mbi nnyo ne bamulagira amutwale e Mulago ng'eno, abasawo gye baakamutemedde nti, omwana yabadde afudde.

Nabweteme wakati mu kwaziirana olw'omwana we yagambye nti, Bwambare yamusendasenda n'amuggya ku mulimu gwe yali akola n'amupangisiza ennyumba e Kabanyoro ng'amusuubizza ebirungi ntoko wabula mu mwaka ogumu gw'amaze naye, nnaku nsa gy'amulabizza omuli n'okumuyombesa n'awatali nsonga.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, Bwambale yakwatiddwa n'aggulwako omusango gw'obutemu ku ffayiro SD 03/19/07/2020 ng'okunoonyereza okuzuula ekyaviiriddeko Bwambare okukola ekikolwa kino bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...