TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukugu alaze Buganda by'erina okukola okubbulula ebyenfuna byayo

Omukugu alaze Buganda by'erina okukola okubbulula ebyenfuna byayo

Added 20th July 2020

“EBISEERA bikyuse, wadde nga Buganda okuva edda yali ya maanyi naddala mu byobulimi, naye kati abavubuka tebakyali nnyo mu byalo, twetaaga enteekateeka y’okufunira abavubuka emirimu mu bibuga gye baddukira basitule ebyenfuna byabwe olwo ne Buganda edde ku ntikko.” Ebyo bye bigambo by’eyaliko minisita w’amakolero e Mmengo, Peter Mulira.

Abaweesi mu ssasa.

Abaweesi mu ssasa.






Ekiseera we nabeerera minisita w'amakolero e Mengo, nali nakolagana nnyo n'ekitongole ky'obukolero obutono. Nayagala nnyo buli maka gabeereko ekintu eky'ettunzi kye geenyigiramu.

Ne leero, eno y'emu ku nkola ezigenda okutumbula ebyenfuna bya Buganda, kubanga abavubuka bangi badduse mu byalo ne bajja mu bibuga bavuga bboodabooda, tebakyayagala kulima.

Kyokka ne bbooda ze baddamu zirimu ebizibu byazo temukyali ssente, kale weetaagawo enkola y'okuyambako abavubuka okufuna emirimu emirala egibayamba okwebeezaawo.

Gavumenti y'e Mmengo erowooze ku ky'okufunira abavubuka emirimu ng'eteekawo amasomero g'ebyemikono ku buli muluka, nga babayigiriza okutunga, okuluka, okubajja, okulima, okufumba n'ebirala, kubanga bwe basoma amasomo gano bafuna emirimu egy'amangu ate nga miwangaazi.Kino kijja kuyambako okuba nga basobola okukola ebintu by'ettunzi ku bwabwe ne bwe baba nga bali mu maka gaabwe.

Eggwanga lya Buyindi likulidde ku nkola eno ey'obukolero obutono, buli maka galina bye gakola ebivaamu ssente, naffe wano e Buganda tukyetaaga nnyo bwe tuba twagala okulongoosa ebyenfuna kubanga bitandikira mu maka, ssinga amaka gaba geesobola n'eno waggulu wakula mangu.

Obuntu obutono bwe tukozesa mu bulamu obwa bulijjo nga; ebibiriiti, obuti bw'amannyo, obunzaali, amajaani, kaawa n'ebirala bingi, bwe tutandika okubyekolera nga tebiva bweru wa ggwanga, kijja kwongera okusitula ebyenfuna byaffe.

Ssinga buli maka mu Buganda gabaako ebintu bye gakola, oba buli muluka oba ggombola nga lirina ekintu ky'ettunzi kye likola, kijja kusitula ebyenfuna ate bwe bisituka mu maka n'ebyenfuna bya nnyaffe Buganda byonna biba bisituka.

Okugeza; tulaba obuntu obutono obusuubulwa ebweru nga; obuti bw'amannyo, ebibiriiti, sswiiti n'ebirala, ebyo ssinga tubyekolera, ezo ssente ziba zisigadde wano ne twewala okusaasaanya ennyo nga tuzza ebweru, wabula ate naffe tuba tusobola okutundako ebweru ne twongera ku nnyingiza yaffe.

Ebyobulimi nabyo tetusaanye kubisuula mu lutalo lw'ebyenfuna, okuva edda nga Buganda eyimiriddewo ku byabulimi, naye tusaana tuddeyo ku nkola ey'edda eyayambanga Buganda okuba ey'amaanyi.

Edda Buganda yalina enkola ennungi era ey'amaanyi ey'ebyobulimi. Wadde nga kati Mmengo efuba okukoowoola abantu okulima naddala emmwaanyi nga bayita ku mikutu gy'amawulire, naye ekyo tekimala, tusaanye tuddeyo tutunulemu mu nkola z'edda nga Buganda ekyali ya nkizo mu bulimi.

Gavumenti y'e Mmengo yasaliranga amasaza ttani z'emmwaanyi oba ppamba gwe balina okulima okusinziira ku bunene n'obugimu bw'ettaka mu ssaza eryo.

Bwe yamalanga okusalira amasaza, ng'enkiiko z'amasaza nazo zituula nga zisalira abaamagombolola , n'amagombola bwe gatyo nago nga gasalira abeemiruka ate n'abeemiruka nabo ne batuuka mu maka agali mu miruka gyabwe nabo ne babasalira. Essaza nga lirina okutuukiriza omutemwa gwalyo.

Enkola eno yayamba Buganda okubeera ku ntikko mu byobulimi ne mu byenfuna. Buganda era yalinanga abalimisa abaagendanga mu byalo ne basomesa abantu ku by'ennima ennungi, baabasimbisanga paasikalamu okukwata ettaka lireme okukulukuta.

Buli maka gaalinanga obuvunaanyizibwa okukola ennyo nga galina okubeera n'emisiri oba ennimiro ez'okulya n'okufunamu ssente, nga ppamba oba emmwaanyi.

Abaami ba Kabaka baalambulanga abantu okulaba nti kino bakituukiriza. Bino Mmengo by'esaana okuddamu okukola, okuteekawo omuwendo ogw'essalira ku birimibwa mu buli ssaza bwe tujja okudda ku ntikko.

"EBISEERA bikyuse, wadde nga
Buganda okuva edda yali ya
maanyi naddala mu byobulimi,
naye kati abavubuka tebakyali
nnyo mu byalo, twetaaga enteekateeka
y'okufunira abavubuka
emirimu mu bibuga gye baddukira
basitule ebyenfuna byabwe olwo
ne Buganda edde ku ntikko."
Ebyo bye bigambo by'eyaliko
minisita w'amakolero e Mmengo,
Peter Mulira. Ekiseera we
nabeerera minisita w'amakolero
e Mengo, nali nakolagana nnyo
n'ekitongole ky'obukolero obutono.
Nayagala nnyo buli maka
gabeereko ekintu eky'ettunzi kye
geenyigiramu.
Ne leero, eno y'emu ku nkola
ezigenda okutumbula ebyenfuna
bya Buganda, kubanga abavubuka
bangi badduse mu byalo ne bajja
mu bibuga bavuga bboodabooda,
tebakyayagala kulima.
Kyokka ne bbooda ze baddamu
zirimu ebizibu byazo
temukyali ssente, kale weetaagawo
enkola y'okuyambako abavubuka
okufuna emirimu emirala
egibayamba okwebeezaawo.
Gavumenti y'e Mmengo
erowooze ku ky'okufunira abavubuka
emirimu ng'eteekawo
amasomero g'ebyemikono ku
buli muluka, nga babayigiriza
okutunga, okuluka, okubajja,
okulima, okufumba n'ebirala,
kubanga bwe basoma amasomo
gano bafuna emirimu egy'amangu
ate nga miwangaazi.Kino kijja
kuyambako okuba nga basobola
okukola ebintu by'ettunzi ku
bwabwe ne bwe baba nga bali mu
maka gaabwe.
Eggwanga lya Buyindi likulidde
ku nkola eno ey'obukolero
obutono, buli maka galina bye
gakola ebivaamu ssente, naffe
wano e Buganda tukyetaaga nnyo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago (ku ddyo) mu lukiiko.

Lipooti ku ddwaaliro lya KC...

MU lukiiko Loodi Mmeeya Erias Lukwago mwe yayombedde olwa Gavumenti okusala ssente zegenda okuwa KCCA, yayanjudde...

Abawagizi ba NUP nga batongoza ekipande kya Bobi ekipya.

Lwaki Bobi akyusizza akakoo...

OMUBAKA Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, akyusizza ekifaananyi kye ekitongole ekigenda okukozesebwa ku kakonge mu...

Ettaka osobola okulikubirako bbulooka ng'ono omuvubuka.

By'olina okukolera ku ttaka...

Ettaka kye kimu ku by'obugagga ebirabwako omuntu by'abeera nabyo abantu abatali bamunda ne bategeera obukozi bwe...

Paasita Ssennyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga yeeyamye ...

OMUSUMBA Jackson Ssenyonga owa Christian life church e Bwaise yeeyamye okulabirira abaana ba Pasita Yiga abanaakeberebwa...

Ekisse Paasita Yiga Mbizzaa...

PASITA Augustine Yiga Abizzaayo afiiridde ku myaka 43. Ono abadde nga nnawolovu atafiira ku bbala limu.