TOP

Poliisi ekunyizza abasuubuzi ba KACITA

Added 21st July 2020

ABAKULEBEZE b'abasuubuzi abeegattira mu kibiina (KACITA), baamaze essaawa ezisukka mu 4 ku CPS nga Poliisi ebakunya ku bigambibwa nti baakuma omuliro mu basuubuzi ne babagamba okuggulawo amaduuka gaabwe ekikontana n’ebiragiro bya Pulezidenti.

Kayondo (ku ddyo) ne Ssekitto (mu ttaayi) nga batuuka ku CPS.

Kayondo (ku ddyo) ne Ssekitto (mu ttaayi) nga batuuka ku CPS.





Ssentebe w'ekibiina, Evarest Kayondo, n'Omwogezi Issa Sekitto, batuuse ku poliisi y'oku CPS, ku ssaawa 10:00 ez'oku makya nga bawerekeddwaako bannamateeka baabwe abaakulembedwamu Joseph Sevvume.

Baatuukidde mu ofiisi y'akulira okunoonyereza ku misango ku CPS, Joshua Tusingwire. Kayondo, yategeezezza Bukedde, nti ng'oggyeeko eby'okukunga abasuubuzi okuggulawo amaduuka, Poliisi yabasabye okubannyonnyola ku by'ejjinja eryakuba kabangali yaabwe n'eyatika endabirwamu.

Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n'emiriraano, Lule Owoyesigyire yagambye nti, abavunaanibwa bombi baabagyeeko sitaatimenti ku bigambo bye baayogera ebyaviirako okusasamaza abasuubuzi ne batuuka n'okwekalakaasa.

Yagasseeko nti, bano, oluvannyuma baabatadde ku kakalu ka Poliisi era ne babalagira okuddamu okweyanjula ku Poliisi yeemu nga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....