Dr. Tanga Odoi akulira akakiiko k'ebyokulonda mu NRM yakakasizza nga Pulezidenti bwe yasindise bannamateeka be abaamuggyiddeyo empapula ku bifo byombi era n'asasula n'obukadde 20 ezeetaagisa.
Empapula bannamateeka baazikimye ku kitebe kya NRM ku Kyadondo Road, era Tanga Odoi yakakasizza nti ebyetaago byonna bye baasaba Pulezidenti yabiweerezza era ne bamuwandiika.
Museveni y'abadde ssentebe wa NRM okuva lwe bajja mu buyinza era ng'abadde Pulezidenti wa Uganda okuva mu 1986. Kyokka yatandika okukubwako akalulu mu 1996 ng'okuva olwo azze awangula okulonda okuzze kutegekebwa.
Olukiiko olufuzi olw'oku ntikko olwa CEC lwayisa dda ekiteeso ekisimbawo Museveni mu kulonda okujja nga tavuganyiziddwa. Ekisigalidde lwe lukiiko ttabamiruka (Delegates Conference) okukikubako akalulu.
Ku kifo kya ssentebe w'ekibiina, John Ssimbwa eyaliko omubaka wa Makindye East ne Mathias Lukwago abaabadde bagezaako okuggyayo empapula baalemereddwa olw'obutaba na ssente za kwewandiisa.
Guno gwe mulundi ogwokuna nga Pulezidenti aggyayo empapula mu kibiina kya NRM okwesimbawo ku bwassentebe n'okukwatira ekibiina bendera ku bwapulezidenti. Yasooka mu 2005 nga yeetegekera okulonda kwa 2006 era teyavuganyizibwa.
Yaddako mu 2010 nga yeetegekera okulonda kwa 2011 era teyavuganyizibwa ne mu 2015 nga yeetegekera okulonda kwa 2016 era ku nfunda zonna yayitamu tavuganyiziddwa
Abaagezaako okumwesimbako mulimu: Dr. Elizabeth Lugudde Katwe, Capt. Daudi Ruhinda Magulu n'abalala. Baggyayo empapula okwesimba ku bwassentebe bwa NRM n'okukwatira ekibiina bendera ku bwapulezidenti kyokka nga bawandulwa tebannatuuka mu ttabamiruka wa kibiina.
Mu kulonda kwa 1996 , Dr. Kawanga Semwogerere eyali Minisita w'Ensonga ez'ebweru yalekulira obwaminisita ne yeesimba ku bwapulezidenti mu nkola ey'omugendo ate mu 2001, Dr. Besigye yava mu NRM n'amwesimbako ng'ajjira mu kisinde ekya Reform Agenda. Okwewandiisa okukwatira ekibiina bendera ku kifo ky'obwapulezidenti osasula obukadde 10, ku bwassentebe bw'ekibiina mu ggwanga obukadde 10, omumyuka wa ssentebe w'ekibiina asooka n'owookubiri obukadde butaano buli kifo.
Haji Moses Kigongo ye mumyuka wa ssentebe asooka ate Rebecca Kadaga ye mumyuka wa ssentebe owookubiri. Abakiise ba ssentebe omukaaga abatwala ebitundu okuli; Kampala, obukiika kkono, obuvanjuba, obugwanjuba, amasekkati (Buganda) ne Karamoja osasula obukadde bubiri n'ekitundu. Ababaka ba Palamenti basasula obukadde bubiri ate bammeeya b'ebibuga basasula akakadde kamu n'ekitundu.
Eggulo amyuka Ssaabawandiisi wa NRM, Richard Todwong yakwasizza mu butongole akakiiko k'ekibiina ak'ebyokulonda enkalala z'abalonzi bonna mu ggwanga.
Todwong yategeezeza nti abalonzi abeewandiisa bali 11,933,793 ate ebyalo ebirondebwamu biri 68,740. Enkalala zonna ziriko ennamba ey'enjawulo ‘code' okwewala okujingirira empapula.
PULEZIDENTI Museveni aggyeyo
empapula z'ekibiina kya
NRM ezimukkiriza okuddamu
okubeera ssentebe waakyo mu
ggwanga n'okumukkiriza akwatire
ekibiina bendera mu kulonda
kwa 2021.
Dr. Tanga Odoi akulira
akakiiko k'ebyokulonda mu NRM
yakakasizza nga Pulezidenti
bwe yasindise bannamateeka
be abaamuggyiddeyo empapula
ku bifo byombi era n'asasula
n'obukadde 20 ezeetaagisa.
Empapula bannamateeka
baazikimye ku kitebe kya NRM
ku Kyadondo Road, era Tanga
Odoi yakakasizza nti ebyetaago
byonna bye baasaba Pulezidenti
yabiweerezza era ne bamuwandiika.
Museveni y'abadde ssentebe
wa NRM okuva lwe bajja mu
buyinza era ng'abadde Pulezidenti
wa Uganda okuva mu 1986.
Kyokka yatandika okukubwako
akalulu mu 1996 ng'okuva olwo
azze awangula okulonda okuzze
kutegekebwa.
Olukiiko olufuzi olw'oku ntikko
olwa CEC lwayisa dda ekiteeso
ekisimbawo Museveni mu kulonda
okujja nga tavuganyiziddwa.
Ekisigalidde lwe lukiiko ttabamiruka
(Delegates Conference)
okukikubako akalulu.
Ku kifo kya ssentebe
w'ekibiina, John Ssimbwa eyaliko
omubaka wa Makindye East ne
Mathias Lukwago abaabadde
bagezaako okuggyayo empapula
baalemereddwa olw'obutaba na
ssente za kwewandiisa.
Guno gwe mulundi ogwokuna
nga Pulezidenti aggyayo empapula
mu kibiina kya NRM
okwesimbawo ku bwassentebe
n'okukwatira ekibiina bendera ku
bwapulezidenti.
Yasooka mu 2005 nga yeetegekera
okulonda kwa 2006 era
teyavuganyizibwa. Yaddako mu
2010 nga yeetegekera okulonda
kwa 2011 era teyavuganyizibwa
ne mu 2015 nga yeetegekera
okulonda kwa 2016 era ku nfunda
zonna yayitamu tavuganyiziddwa
Abaagezaako okumwesimbako
mulimu: Dr. Elizabeth Lugudde
Katwe, Capt. Daudi Ruhinda Magulu
n'abalala. Baggyayo empapula
okwesimba ku bwassentebe
bwa NRM n'okukwatira ekibiina
bendera ku bwapulezidenti kyokka
nga bawandulwa tebannatuuka
mu ttabamiruka wa kibiina.
Mu kulonda kwa 1996 , Dr.
Kawanga Semwogerere eyali
Minisita w'Ensonga ez'ebweru
yalekulira obwaminisita ne
yeesimba ku bwapulezidenti
mu nkola ey'omugendo ate mu
2001, Dr. Besigye yava mu NRM
n'amwesimbako ng'ajjira mu
kisinde ekya Reform Agenda.
Okwewandiisa okukwatira
ekibiina bendera ku kifo
ky'obwapulezidenti osasula
obukadde 10, ku bwassentebe
bw'ekibiina mu ggwanga obukadde
10, omumyuka wa ssentebe
w'ekibiina asooka n'owookubiri
obukadde butaano buli kifo.
Haji Moses Kigongo ye mumyuka
wa ssentebe asooka ate
Rebecca Kadaga ye
mumyuka wa ssentebe
owookubiri.
Abakiise ba ssentebe
omukaaga abatwala
ebitundu okuli;
Kampala, obukiika
kkono, obuvanjuba,
obugwanjuba, amasekkati
(Buganda) ne Karamoja osasula
obukadde bubiri n'ekitundu.
Ababaka ba Palamenti basasula
obukadde bubiri ate bammeeya
b'ebibuga basasula akakadde
kamu n'ekitundu.
Eggulo amyuka Ssaabawandiisi
wa NRM, Richard Todwong yakwasizza
mu butongole akakiiko
k'ekibiina ak'ebyokulonda enkalala
z'abalonzi bonna mu ggwanga.
Todwong yategeezeza nti abalonzi
abeewandiisa bali 11,933,793
ate ebyalo ebirondebwamu biri
68,740.
Enkalala zonna ziriko ennamba
ey'enjawulo ‘code' okwewala
okujingirira empapula.