TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nannyini nnyumba asuulidde omupangisa ebintu wabweru lwa Bukadde 2

Nannyini nnyumba asuulidde omupangisa ebintu wabweru lwa Bukadde 2

Added 21st July 2020

Landiloodi agobye omupangisa mu nnyumba n’amukasukira ebintu ebweru lwa bbanja lya bukadde bubiri n’ekitundu ery’essente z’obupangisa.

Omukyala agobeddwa mu nnyumba n'abaana

Omukyala agobeddwa mu nnyumba n'abaana

Landiloodi agobye omupangisa mu nnyumba n'amukasukira ebintu ebweru lwa bbanja lya bukadde bubiri n'ekitundu ery'essente z'obupangisa.

Annet Mbabazi yeyagobeddwa mu nnyumba ku kyalo kya Nansana West 11A mu munisipaali ye Nansana oluvannyuma lw'okumala emyezi 9 nga tasasula nnyumba gyabadde apangisa.

Ono ategezezza nti landiloodi we yamugobye mu nnyumba ku Ssande namulagira okugyamuka mbu ye atekemu abanaasobola okugisasula kuba yazimba nnyumba zkubezaawo bulamu bwe.

Agambye nti yali asubula ebirime ng'abitwala e Rwanda wabula oluvannyuma lw'okuggalawo ensalo abadde tajyakola era nga n'omulimu gweyali agenda okutandika okukola ogw'okwoza engoye yali yakagufuna ate omuggalo neguyingirawo mu ggwanga.

Mbabazi agambye nti ennyumba abadde agipangisa emitwalo 30 buli mwezi nga kati landiloodi we amubanja obukadde 2.7 zeyagambye nti tasobola kuzifuna kusasula mukaseera kano nga talina mulimu gwakola.

Akulira eby'okwerinda kyalo kya Nansana West IIA Joseph Lutwama yategezezza nti mu February w'omwaka guno baafuna okwemulugunya okuva ewa landiloodi ng'abategeeza nti abanja Mbabazi ssente empitirivu wabula ne bakola endagaano Mbabazi nebamuwaayo obudde yetereeze asasule ebbanja.

Agamba nti kino Mbabazi kyaamulema okutuusa landiloodi bweyasazeewo okumulagira amuviire olwo ye atekemu  abapangisa abanaasobola okusasula. Bya Peter Ssaava

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuwagizi wa NUP ng'abuuka ku mmotoka ya Bobi Wine okuwona abapoliisi okumukwata.

Omuwagizi wa NUP abuuse aba...

Bobi Wine bwe yabadde e Luuka gye buvuddeko gye baamukwatidde ne bamusibira e Nalufenya bingi ebyabaddewo. Muno...

Okilu nga bamusiba bamwokye.

Ono omubbi alula ! Babadde ...

OMUVUBUKA aludde ng'abatuuze bamulumirizza okubamenyera amayumba n'abanyagulula bamukutte lubona ng'abba ne bamusiba...

Omusawo w'ekinnansi ne bba.

Omusawo wekinnansi ne bba b...

OMUSAWO w'ekinnansi, Rosemary Nabakooza azinye amazina agagete n'abasajja n'awuniikiriza abatuuze abeetabye mu...

Sseviiri ng'aalaga ebisago ebyamutuusiddwaako abaamukubye.

Bawambye abeesimbyewo e Lub...

Abantu abatannategeerekeka baawambye abamu ku beesimbyewo mu bitundu bya munisipaali y'e Lubaga eby'enjawulo, ne...

Byabakama.

Poliisi mukomye okugumbulul...

SSENTEBE w'akakiiko k'ebyokulonda, Simon Byabakama awandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga n'amulagira bakomye...