TOP

Bobi ayanjudde ensonga 5 ezimuwa akalulu

Added 22nd July 2020

BOBI Wine agambye nti akalulu 2021 agenda ku kawungula na tonziriranga (knock out). Yalabudde nti ssinga anaawangula, akakiiko k’ebyokulonda ne katamulangirira, balinde ekiddako.

Poliisi ng’esudde emisanvu ku luguudo lw’e Gayaza, ‘Ku Mbuzi’ okutangira abawagizi ba Bobi (ku kkono) abaabadde bamugoberera mu mmotoka.

Poliisi ng’esudde emisanvu ku luguudo lw’e Gayaza, ‘Ku Mbuzi’ okutangira abawagizi ba Bobi (ku kkono) abaabadde bamugoberera mu mmotoka.





Kyokka Gavumenti ezze ekidding'ana nti akalu lye kkubo lyokka erikirizibwa mu mateeka okukyusa obukulembeze. Bobi yabadde ayogerera ku Top TV eggulo n'agamba:

Nze ndi ntunnunsi ya nkyukakyuka. Nkulembera abavubuka ebitundu 80 ku 100. Bye njogera bwe biba bimenya mateeka kale poliisi ejje enkwate banvunaane. We yatuukidde ku ttivvi eno e Bwaise, poliisi yabadde etadde abaserikale okwetooloola ekifo nga baaza buli ayitawo.

Naye baasoose kumwaza. Abaamuwulidde ng'ayogera ku ttivvi baamulindiridde ku nguudo. Bwe yafulumye sityudiyo yalinnye emmotoka ye n'akwata Northern Bypass okudda ku lw'e Gayaza.

Poliisi yamuwerekedde okutuuka ewuwe e Magere. Bakira ayimirira okulamusa abantu, poliisi nga ebakubamu ttiyaggaasi okubagumbulula.

Ng'ali ku ttivvi yagambye nti alina amakubo mangi okutuusa obubaka ku bantu n'alaga bw'ayigganyizibwa okutuuka okuwera ennyimba ze ku ttivvi ne leediyo, n'okumugaana okukola konsati.

Awakanya kampeyini ezitaliimu nkung'aana (scientific campaigns) n'agamba nti ku ttivvi ne leediyo tebajja kusobola kutuuka mu bantu kubanga minisita yennyini yategeezezza nti Bannayuganda ebitundu 30 ku 100 bokka be balina amasannyalaze.

Kitegeeza abananoonya obululu ku ttivvi bajja kuwulirwa abantu batono abazirina. Ekirala ttivvi n'emikutu gy'empuliziganya emirala tukyalina ntono tezimalaawo bwetaavu.

Yawadde ekyokulabirako kya munisipaali y'e Kawempe nti omuwendo gw'abagenda okwesimbawo ne bw'obawa buli omu eddakiika emu boogere tebasobola kuggwaayo.

Ate ng'emikutu girina pulogulaamu endala tegigenda kubeera ku kampeyini zokka. Yalumbye abanene mu Gavumenti abakuba enkung'aana kyokka ng'abavuganya babakugira.

Yagambye nti batandise kwekweka mu masinzizo n'agattako nti abanene abo bwe baba tebalina gwe batya waakiri batye Katonda.

BAAKUSIMBAWO OMUNTU OMU

Bobi Wine yayogedde mu lukiiko lwa bannamawulire ku kitebe kya People Power e Kamwokya n'agamba nti kimutwalidde emyaka esatu ng'akola ppulaani okusiguukulula Museveni mu buyinza kati kye kiseera.

"Tuludde nga twogera ne Besigye era tulina we tutuuse. Ekirowoozo kyaffe kiri nti guno mulembe gwaffe ng'abavubuka era bwe tugatta amaanyi gonna tujja kuwangula akalulu. Besigye ne bw'ateesimbewo twagala okukolagana naye kubanga aludde nga kyakulabirako kirungi gyendi. Amin yakyogera nti bw'ogenda mu bikonde kuba ‘knock out'. Museveni nja kumukuba ‘knock out' agende akole ebirala," bwe yagambye.

Yagambye nti baagala kukkaanya buli kifo basimbewo omuntu omu. Abali mu People Power bwe balemwa okukkaanya kiwa ekifaananyi kibi.

Kyokka ne bwe tunaalemwa okukkaanya ku kusimbawo omuntu omu, tulina omulamuzi asembayo ye mulonzi agenda okukuba akalulu. "Nnali mulaasi nga nnina enviiri zigwa eri.

Kati nze pulezidenti wa Uganda addako. Twetaaga twambalagane ne Museveni nga tukulembeddwa omuntu omu", bwe yagambye.

Ensonga ze ziizino

  • Obukulembeze obugondera amateeka. Nga bussa ekitiibwa mu ddembe lyobuntu. Abali mu buyinza Ssemateeka baamufuula nga emmeeza gy'olaba nga yeekiise mu mulyango, bw'obeera oyagala okuyitawo ogiggyawo, bwe balaba ng'etteeka libakwata nga baliggyawo.
  •  Ebyobulamu byetaaga okulwanirira kubanga ne mu kiseera kino ekya kkalantiini olwa corona, Uganda efunye ssente nnyingi kyokka tebazimbyeko wadde eddwaaliro. Ekyewuunyisa kwe kulaba nga bateesa okuteeka ebitanda mu kisaawe e namboole bajjanjabireyo abantu.
  • Ensonga eyookusatu ya Tripple AAA (Academics, Athletics, Arts). Ebyenjigiriza, ebyemizannyo, okuyimba ne katemba. Okuyita mu byenjigiriza, Uganda osobola okugifuula nga Jamaica.
  • Ettaka, ebyobugagga eby'omu ttaka birina okubeera ebya Bannayuganda bonna. Ng'awangudde, Uganda erina okuddamu okwetegereza enkola ku by'ettaka. Ajja kuzzaawo ebibiina by'obwegassi.
  • Okwegatta n'obumu bw'eggwanga ayagala kabineti nga buli Munnayuganda yeerabamu. Yakuutidde bannaddiini batye Katonda okusinga okutya Museveni.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kigonvu (ku ddyo) ng'annyonnyola omuserikale ebikwata ku ttaka lino.

Omusika atabuse ne nnyina l...

WAABADDEWO akasattiro ku kyalo Kabuuza e Matugga mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso, abaana b’omugenzi...

Abamu ku batembeeyi nga batadde emmaali yaabwe wabweru w’amaduuka agaliraanye ekibangirizi ky’omu Kikuubo mu Kampala.

Abasuubuzi boogedde bwe bak...

ABASUUBUZI b’omu Kampala abeegattira mu bibiina ebyenjawulo beekokkola embeera ey’ebyobufuzi eriwo naddala ebyokulonda...

Hudu Hussein eyalondeddwa okubeera omubaka wa pulezidenti mu Kampala.

Nsookera ku kugatta Bannaka...

HUDU Hussein eyalondeddwa ku bwa RCC wa Kampala agambye nti ky’atandikirako kwe kugatta Bannakampala bave mu njawukana...

Looya Fred Muwema ng’aliko by’annyonnyola Ham (wakati) bwe baabadde ku kkooti ejulirwamu eggulo.

Kkooti egobye okusaba kwa B...

KKOOTI ejulirwamu egobye okusaba kwa Bbanka enkulu (BOU) mw’ebadde eyagala okugattibwa ng’abatalina ludda mu musango...

Minisita Ssempijja e Lukaya ng’ayogera eri abawagizi be.

Minisita Ssempijja akyayomba

MINISITA Vincent Bamulangaki Ssempijja eby'okumukuba akalulu byongedde okumutabula. Okuva lwe yawangulwa, anenyezza...