TOP
  • Home
  • Amawulire
  • FDC erabudde bammemba baayo abagenze mu ''People power''

FDC erabudde bammemba baayo abagenze mu ''People power''

Added 22nd July 2020

FDC erabudde bammemba baayo ku by’okugenda mu kisinde kya ‘‘People power’’ ekikulemberwa omubaka Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) okubawandako eddusu n’agamba nti bamala biseera kuba (People Power) ssi kibiina kya byabufuzi kiwandiise mu mateeka.

Ssemuju Nganda

Ssemuju Nganda




Ssemujju yagambye nti ku kapapula k'akalulu kujja  kubaako mannya na bubonero bw'ebibiina ebiwandiise mu matteeka nga FDC era eby'ekisinde kya  ‘'People power'' tebijja kubaako. Era  Abali mu People Power bajja kuba ng'abeesimbyewo ku bwanamugina.

 N'awabula  nti aba FDC abanaasalawo  okugenda ne mu ‘'People power'' nayo babawandeko eddusu  ba ddembe kyokka kiyinza obutabayamba kuba ssi kiwandiise mu matteeka ng'ekibiina  ky'ebyobufuzi.

Ssemujju yabadde ayanukula bannamawulire abaamubuuzizza ku ky'abamu ku bammemba b'ekibiina kino abaasazeewo okugenda mu ‘'People power'' okubawandako eddusu.

Yagambye nti abeesimbyewo bakola obukodyo bungi okulaba nga bayitamu n'agamba nti ba ddembe n'okugenda mu ‘'People power'' nayo okubawandako eddusu kyokka bakimanye nti ebya ‘'People Power'' tebijja kuba ku kapapula ka kulonda.

Ssemujju yalumbye eyali minisita Mike Mukula olw'okugenda ng'alaga mu lwatu abantu b'ayita aba FDC ng'agamba nti baasaze eddiiro okugenda mu NRM ekitali kituufu . N'alumiriza  nti Mukula akubisa obufulaano bwa FDC ne kaadi z'ekibiina kino ez'ebicupuli n'abikwasa abantu abatali ba FDC b'agenda alaga nti basaze eddiiro  asobole okusanyusa  bakama be.

Kyokka yagambye nti tebagenda kumwonoonerako biseera kuba bamumanyi ssi mwesimbu n'amulangira nti erinnya lye lyalabikirako ne mivuyo gy'ensimbi z'okulwanyisa akawuka ka Siriimu eza Global Fund.

DC erabudde bammemba baayo abagenze mu ''People power''

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekabembe ng’alaga ezimu ku keeki eziwedde okuyooyootebwa.

Ssekabembe eyatandika ne 25...

SINKANA Brenda Sekabembe alina emyaka 42 nga ye mutandisi wa kkampuni ekola keeki eya Bake for Me esangibwa mu...

Poliisi ng’ewalabanya omu ku baaziikudde omulambo gwa Ssali.

▶️ Poliisi egugumbudde abaa...

AMASASI ganyoose mu kuziika nga poliisi egumbulula ebbiina ly'abavubuka abeeridde omuguju ne baziikula omulambo...

Abamu ku basuubuzi abaalumbye ofi isi ya Kushaba.

▶️ Omukazi eyawambye akatal...

MINISITA wa Kampala alagidde omukyala Suzan Kushaba okwamuka mu bwangu ofi isi za KCCA ze yawambye ne yeerangirira...

Abakungu okuva mu kitongole ky’ebyobulamu oluvannyuma lw’eddagala erigema COVID 19 okutuuka mu ggwanga. Baabadde ku kisaawe e Ntebe.

▶️ Okugema Corona kutandika...

BANNAYUGANDA babagumizza ku ddagala erigema corona eryatuuse mu ggwanga nga bwe litalina buzibu eri obulamu bw'abantu....

Omugenzi Kalulu n’omu ku bakazi be.

Owa capati asse gw'asanze a...

OMUSAJJA ow'abakazi ababiri bamufumise ekiso n'afa oluvannyuma lw'okukwatibwa lubona ne muk'omusajja gw'agambibwa...