TOP

Yiiya Ssente: Funa ssente mu mbuzi

Added 22nd July 2020

EMBUZI tezikoma ku kusikiriza olw’endabika, wabula nsolo ezirimu ssente ssinga omanya ky’olina okukola okuzifunamu ssente zikula mangu ate nga zirina akatale. Abalina ettaka eddene bazita ne zigenda okulya omuddo olwo ne bazigabirira kyokka mu kiseera kino ng’ettaka lyongera okendeera, kati zirundirwa mu biyumba





Ø Ekiyumba omugenda embuzi 26 nga kuliko enkazi 25 n'ennume emu, kibeera ku bugazi bwa ffuuti 30 ku 20.

Ø Kino kizimbise mpagi za Musambya nga guno gugumira omusulo gwazo. Buli musambya gugula 20,000/- nga weetaaga empagi 30. Wano osaasaanya 600,000/-.

Ø Kozesa amakooko 200 nga buli limu ligula 1,000/-. Wano weetaaga 200,000/-.

Ø Kugendako amabaati 30 nga buli limu lya 23,000/- n'osaasaanya 690,000/-.

Ø Emisumaali egy'ebika eby'enjawulo gigenda kukutwalako 250,000/-.

Ø Weetaaga embaawo 50 ez'okukola ebiriiro nga buli lumu lwa 7,000/- n'osaasaanya 350,000/-.

Ø Zimba ttanka oba ekinnya omugenda okukung'anyizibwa omusulo nga kya kakadde kamu n'ekitundu.

Omugatte 3,290,000/-.

Ø Embuzi ennume ennungi ogenda kugigula wakati w'akakadde kamu n'ekitundu n'obukadde busatu.

Ø Enkazi ziri ku 700,000/- oba kakadde. Ekitegeeeza nti ogenda kusaasaanya 17,500,000/-.

Ø Buli myezi mukaaga, zigenda kulya ebikanja (Bya Bbiya) ttani kkumi nga buli emu eri ku 90,000/- n'osaasaanya 900,000/-. Era olina okuziwa amazzi.

Ø Gwe atalina bikanja awo wagendawo muddo

Ø Singa obeera ozigulidde ku myezi mukaaga, ku myezi munaana zigenda kutandika okuwaka ng'omwaka gunaagenda okuggwako ng'olina embuzi ento 25 ate singa obeera ofunye olulyo oluzaala ebbiri obeera n'embuzi ento 50 nga nazo zituuse okutunda eri abalya oba abaagala olulyo okulunda.

Bw'obeera waakutunda nnyama embuzi eno ku myezi mukaaga ebeera esobola okuzitowa wakati wa kkiro 10-15 nga singa buli kkiro ogitunda 15,000/-, nga kati bw'esuubula, ofuna wakati wa 150,000/- oba 225,000/-. Bw'ozikubisaamu 25 ofuna 3,750,000/- oba 5,625,000/- ate mu 50 ofuna 7,500,000/- oba 11,250,000/-.

Omusulo nagwo gulimu ssente, okugeza abalimi bagugula okujimusa ate abalala bagukozesa okufuuyira omuddo ne gukala. Olw'okuba mwe zisula n'okusiiba, omwezi osobola okukung'aanya liita z'omusulo 1000 nga buli kidomola kya liita 20 bakigula 50,000/-. Wano obeera ofuna ebidomola 50 n'ofuna 2,500,000/- mu musulo omwezi.

Bino bikulu

Embuzi olina okuzigema obulwadde obuyinza okuziviirako okusowola, okufa n'obutakula wamu n'okutta ebiwuka.

Nga tonnaba kugula weekakase eddundiro gy'ogula olulyo lulungi.

Lima omuddo ogulimu ebiriisa okwongereza ku muddo gwa bulijjo.

Kakasa obuyonjo bw'ekiyumba n'obukuumi okuva eri ababbi n'ensolo eziyinza okuzirumba ne zizitta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutume John Bungo ne Bp. Joel Kakembo nga boogerezeganya mu lukung'aana lw'okusaba

Musabire eggwanga nga twete...

Abasumba okuva mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo babanguddwa ku ngeri gye basobola okulung'amyamu ekisibo kya...

Kabangali etomeddwa bbaasi yonna esaanyeewo mu kabanje akasse abantu abana e Mbarara.

Akabenje katuze 4 e Mbarara...

Abantu bana be bakakasiddwa okufiira mu kabenje akawungeezi kw'olwaleero ku kabuga k'e Rugando mu luguudo lwa Mbarara-Ntungamo...

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...