Turyagumanawe (ku kkono) ng’aliko abaserikale b’awa ebiragiro. Ku ddyo, Turyagumanawe
Mu kiseera w'awummulidde y'abadde avunaanyizibwa ku baserikale ba poliisi abatwalibwa ku minsoni mu nsi endala ekiyitibwa, Directorate of Peace and Support Operations.
Bwe yabadde awaayo ofiisi, yasabye Bannayuganda bonna be yasobya okumusonyiwa ng'omuntu olw'ebyo bye yabasobya. "Nsaba oyo yenna gwe nnasobya mu kiseera kye mpeererezza mu poliisi ansonyiwe kubanga saakikola mu bugenderevu," Turyagumanawe bwe yategeezezza.
Yeebazizza omuduumizi wa poliisi, Martin Okoth Ochola, omumyuka we Muzeeyi Sabiiti, ne banne bonna b'abadde akola nabo, olw'enkolagana ennungi ekimuyambye okufuna obukugu mu by'akola.
Turyagumanawe, yaweerezaako ku poliisi y'e Lugazi, Hoima, Mukono, Karamoja n'awalala. Yakulirako ekitongole kya poliisi ekikuuma ab'ebitiibwa mu ggwanga (VIPPU), ekya Poliisi y'ebidduka n'ebikwekweto. Y'omu ku baserikale abeekolera amannya naddala mu biseera bwe yaliko dayirekita akulira ebikwekweto mu poliisi.
Amyuka dayirekita akulira abakozi mu poliisi, Godfrey Musana, yategeezezza nti Turyagumanawe abadde mmundu mmenye mu Poliisi, ng'emirimu gye agikola buteebalirira.
Kigambibwa nti Turyagumanawe abadde omu ku baserikale ababadde ku bunkenke oluvannyuma lwa Pulezidenti okugaana okwongezaayo kontulakiti zaabwe.
Yeegasse ku banne abasooka okuwummula okuli; AIGP Asuman Mugenyi, AIGP Fred Yiga, AIGP Elizabeth Muwanga, SCP Felix Ndyomugyenyi, AIGP Dr. Stephen Kasiima n'abalala.
Kinajjukirwa nti omulamuzi Julia Sebutinde yakola lipooti ku nneeyisa y'abaserikale abanene mu poliisi era Turyagumanawe yali omu ku abo be baanoonyerezaako.
Ono yali omu ku baserikale 13, lipoota be yassaako essira ne kizuulibwa nga baali beenyigira mu bikolwa ebikyamu omwali okukozesa obubi ofiisi zaabwe.
Wabula, oluvannyuma omulamuzi Jothan Tumwesigye yaddamu n'akola okunoonyereza okw'enjawulo ne kizuulibwa nti Turyagumanawe ne banne abalala 8 tebaalina musango.
Pulezidenti Museveni, kigambibwa nti yasinziira ku byali mu lipooti ya Tumwesigye, eyasembayo, n'akuza Turyagumanawe n'abalala bataano, ku madaala ga AIGP.Ebijjukirwa ku Turyagumanawe
- Mu 2009, Turyagumanawe, yakulemberamu ebikwekweto mu bitundu bya Buganda okukkakkanya abantu abaali beesaze akajegere nga bawakanya Poliisi okulemesa eyali Katikkiro wa Buganda, Ying. John Baptist Walusimbi, okugenda mu ssaza ly'Ebugerere, okuteekateeka okulambula kwa Kabaka.
- lMu 2012, Turyagumanawe, yakulemberamu ebikwekweto mu disitulikiti y'e Kibaale, okutaawuluza Abakiga n'Abanyoro abaali batemagana ebiso nga bakaayanira obwannannyini ku ttaka mu kitundu ekyo.
- lMu August wa 2013, omusuubuzi mu Kampala, Fred Kirema, yagugulana ne Turyagumanawe ku ttaka erisangibwa e Kyaddondo-Mengo, okumpi ne Perryman Gardens, mu Kampala mukadde, nga buli ludda lugamba nti be bannannyini ttaka.
- "Nsaba oyo yenna gwe nnasobya mu kiseera kye mpeererezza mu poliisi ansonyiwe"..