TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasuubuzi bazzeemu okwekalakaasa olw'abagagga okugaana okubaggulira

Abasuubuzi bazzeemu okwekalakaasa olw'abagagga okugaana okubaggulira

Added 23rd July 2020

ABASUUBUZI ku akeedi mu Kampala bongedde okwekalakaasa olw’abagagga bannanyini bizimbe okugaana okubaggulira nga bagamba nti, balina kusooka kusasula emyezi ena gye bamaze mu kalantiini.

ABASUUBUZI ku akeedi mu Kampala bongedde okwekalakaasa olw'abagagga bannanyini bizimbe okugaana okubaggulira nga bagamba nti, balina kusooka kusasula emyezi ena gye bamaze mu kalantiini.

Abasuubuzi abakolera ku Mabiriizi Complex ku Kampala Road be basoose okwe kalakaasa nga bawakanya ekya landiroodi wabwe, Stuart Mabiriizi okubakanda basasule ssente ez'emyezi ena gye bamaze nga tebakola era wano, poliisi yakuttewo abasuubuzi abaabadde bakutte ebipande okwabadde okwemulugunya kwabwe.

Shamiha Kirabo omu ku basuubuzi abakolera ku kizimbe kino yagambye nti oluvanyuma lw'okuggulawo ekizimbe abakikulira baalagidde babasasule emyezi ena egy'emabega kye yagambye nti si kya bwe nkanya.

Yagambye nti baali basabye omugagga abakirize basasuleko emyezi ebiri naye ebiri agifiirwe wabula okusaba kwabwe yakugaanyi ng'ayagala basasule zonna era nga amaduuka agamu yagataddeko kkufulu.

Poliisi yabadde yakakwata ab'oku Mabiriizi ate ne bagitegeeza nti, ne ku Arro Center ku Ben Kiwanuka beekalakaasa.

Abasuubuzi abakolera ku bizimbe by'omugagga Daudi Mutebi okuli Premier Center ne Arro Center, beekunganyiiza nga bagamba nti, tebasobola kusasula ssente za myezi ena gye bamaze nga tebakola.

Bano, abaabadde bakulembeddwa ssentebe w'ekibiina kya Kampala New Generation Traders Association Joh Kabanda nabo baakutte ebipande okuli ebigambo nti, ‘No rent' ebitegeeza nti teri kusasula za bupangisa.

Poliisi eyabadde ekulembeddwa Ivan Nduhura aduumira ebikwekweto ku CPS yabakkakkanyizza n'abategeeza nti, yabadde agenda kwogera ne nnanyini kizimbe n'abasuubiza okubayamba okutuuka ku nzikiriziganya naye kyokka ne basigla nga beewera nti, singa tebakkiriziganya, baakuddamu okekalakaasa olwaleero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...