TOP

Okufuna ssente mu nnimiro y'omu luggya

Added 23rd July 2020

MU kiseera kino nga buli kintu ky’esibidde waka n’abalina ettaka eddene mu byalo kibakaluubiriza okutuukayo okubaako kye bakola, okimanyi nti oyinza okukozesa oluggya lwo n’okendeeza ensaasaanya y’amaka go, n’olya bulungi nga weewaze eby’okulya ebijjudde eddagala ate n’ossaawo ennyingiza.

MU kiseera kino nga buli kintu ky'esibidde waka n'abalina ettaka eddene mu byalo kibakaluubiriza okutuukayo okubaako kye bakola, okimanyi nti oyinza okukozesa oluggya lwo n'okendeeza ensaasaanya y'amaka go, n'olya bulungi nga weewaze eby'okulya ebijjudde eddagala ate n'ossaawo ennyingiza. Kino ky'ekibalo ky'engeri gy'osobola okufuna ssente okuva mu nnimiro ez'enjawulo z'osobola okukola mu luggya lwo, ku lubalaza, mu kisasi n'awalala n'obaako ennyingiza gy'otandikawo.

Ennimiro. lEnnimiro zino zikole mu ngeri y'amadaala era ng'osobola okusimbako ebirime eby'enjawulo naye nga kirungi n'osimbako ebirime ebitaggwaako lumu era ebitabala bibala bizitowa nga bw'olaba enyaanya wabula n'osimbako ebiriibwako ebibala ng'obutungulu, spinach, sukumawich n'ebirala.

lTugenda kukola ennimiro enneetooloovu ng'egendako obukutiya 7 obwa sukaali kkiro 50 ku ddaala erisooka olwo n'ogenda ng'oggyako kamu okutuusa ku kukozesa akamu. lOkukekkereza osobola okukozesa amazzi g'ekiddo ky'okumazzi n'onnyikamu ensigo nga tonnazisimba nga kino kiziwa amaanyi era mu nnaku nnya zibeera zimaze okumera olwo ne zibeera mu nnassale okumala wiiki bbiri okusimbuliza. Ekigimusa l Tutandika okusimba ebirime byaffe mu mabanga ga yinki bbiri okuva ku kikolo okudda ku kirala olwo ng'etwala ebikolo ebisoba mu 100.

lEttaka ly'ogenda okukozesa ennimiro eno osobola okulifuna ku kasasiro ng'olonzeemu obuveera oba okugula ku 25,000/-. lTabulamu obusa obugaali busatu nga buli kamu ka 5,000/-. Okuzimba lEgendako emisumaali, akatimba n'amayinja ng'okutwaliza awamu eyinza okukumalako 70,000/-. Amakungula Zino onogako bikoola ebikuze gamba nga sukumawiiki buli ekikoola kibeera kya 100/- nga wano obeera osobola okutunda 10,000/- buli lunaku. Olwo omwezi n'ofuna 300,000/- ku nnimiro emu. Kati singa ossaawo eziwera ettaano weebalemu. Biwandiikiddwa Herbert Musoke okuva ku Harriet Nakabaale owa Camp green e Kawaala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...