TOP

DP ne FDC balaze kye bazzaako

Added 23rd July 2020

FDC, DP n’ebibiina ebirala kati bitunuulidde okwongera amaanyi mu kaweefube w’okusunsula abanaabikwatira bendera omuli ne ku ntebe ya Pulezidenti.

FDC, DP n'ebibiina ebirala kati bitunuulidde okwongera amaanyi mu kaweefube w'okusunsula abanaabikwatira bendera omuli ne ku ntebe ya Pulezidenti. Balabudde Bobi Wine nti wadde bamwagaliza buwanguzi, naye kati agenda kumanya abantu abatuufu abamugoberera kubanga abamu ku babadde bamutambulirako nga banoonya amaanyi basobole okuwangula akalulu, abateebye ggoolo.

Ssentebe wa FDC Wasswa Biriggwa yategeezezza Bukedde nti okusalawo nti Besigye takomawo kwesimbawo kirina kuva mu ye yennyini; wabula Bobi Wine okutongoza ekibiina tekibagaana kusigala nga boogerezeganya ku ky'okusimbawo omuntu omu.

Pulezidenti wa DP Nobert Mao yategeezezza nti kibakoze bulungi Bobi Wine okulangirira nti afunye ekibiina kubanga kibadde kizibu okukolagana n'omuntu ssekinnoomu naye kati kijja kubanguyira okukolagana naye kubanga bwe batuula babeera boogera ng'abakulembeze abafaanagana. Israel Mayengo eyawummula ebyobufuzi yagambye nti Bobi Wine alina okufuba okukitegeera nti ekitta ebibiina byobufuzi kwe kutambulira ku ntoli z'oyo akitandise; n'abeera Ssentebe waakyo ate n'ayagala akikwatire ne bendera ku Bwapulezidenti; n'okusalawo ku bifo ebirala. Omwogezi wa FDC Ssemujju Nganda era Omubaka wa munisipaali y'e Kira: Omubaka Kyagulanyi kati agenda kumanya abantu abatuufu baakolagana nabo, abamu babadde baddukira mu People Power olw'omuggundu oguliwo nga baagala kugikozesa kuwangula bifo, oluvannyuma baddeyo mu bibiina byabwe, ekitakyasoboka.

Kyokka Ssemujju yagambye nti okutongoza ekibiina kigenda kuyambako Kyagulanyi okweggyako bannakigwanyizi. Ken Lukyamuzi owa CP: Kirowoozo kisuffu okubeera nti Kyagulanyi ataddewo ekibiina kubanga kyongera okunyweza ebyobufuzi ebiri ku musingi gw'ebibiina by'ebyobufuzi.

Hajji Abud Nadduli omumyuka wa ssentebe wa NRM owa Buganda: Bonna ababadde mu mugongo gwe mu kisinde kya People Power babadde ku bulimba era nze bulijjo mbagamba nti ekisinde tekisobola kukola nga kibiina kya byabufuzi. Paul Bukenya amyuka omwogezi w'akakiiko k'ebyokulonda yategeezezza Bukedde nti ekibiina kya National Unity Reconciliation Development Party, kyawandiisibwa December 28, 2004. Wabula kyakyusa erinnya mu August 2019 ne kifuuka National Unity Platform era bakimanyi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...