
Minisita wa bulungibwansi, ettaka n'ebizimbe mu bwakabaka bwa Buganda Mariam Mayanja Nkalubo atongozza olunaku lwa Bulungibwansi mu Lubaga webalongooserezza olubiri lw'e Mengo nga beetegekera amatikkira ga Ssabasajja Kabaka agagenda okubaawo nga July 31 omwana guno.
Minisita Nkalubo asabye abantu okuba abayonjo kitangire endwadde eziyinza okubalumba.







Bya Peter Ssaava.