TOP

'Omukungu wa poliisi angobye n'awasa omulala'

Added 27th July 2020

OMUKUNGU wa poliisi asindise maama w’abaana mu kyalo, mu maka n’awasizaamu omukazi omulala.

Nantumbwe gwe baagobye. Ku ddyo, ye ASP. Benald Clyde Ssembusi 40, akulira ebikwekweto mu kitongole kya poliisi ezikiza omuliro ekya Fire Brigade

Nantumbwe gwe baagobye. Ku ddyo, ye ASP. Benald Clyde Ssembusi 40, akulira ebikwekweto mu kitongole kya poliisi ezikiza omuliro ekya Fire Brigade

ASP. Benald Clyde Ssembusi 40, akulira ebikwekweto mu kitongole kya poliisi ezikiza omuliro ekya Fire Brigade ku Clock Tower yatabuse ne mukyala we, Jacklyne Nantumbwe 29, gw'amaze naye emyaka 12.

Bano bombi batuuze b'e Buwambo mu ggombolola y'e Gombe mu Wakiso. Nantumbwe agamba nti alina abaana basatu ne Ssembusi wabula yafunamu obulwadde obwali bumutawaanya bba n'amusindika mu kyalo ajjanjabibwe kubanga baali batambudde malwaliro nga tebalaba kimuluma.

Yagambye nti waliwo eyalagirira bba omusawo w'ekinnansi e Ttanda ku luguudo lw'e Mityana nti ayinza okuwonya Nantumbwe obulwadde bw'atyo n'amusindika ajjanjabibwe wabula yali tannadda ne baggalawo entambula ey'olukale olwa ssenyiga omukambwe.

Mmotoka z'olukale bwe zaddamu okukola oluvannyuma Nantumbwe yasalawo akomewo mu maka ge kyokka kyamubuuseeko bwe yasanze nga bba yawasa dda omukazi omulala.

Nantumbwe ayongerako nti bwe yakomyewo bba teyamusanzeewo kyokka bwe yamukubidde essimu yakomyewo ne balamu be bataano n'omukazi Ssembusi gwe yawasa, Christine Atuhaire ne bamulagira okufuluma amaka.

ASP. Benald Clyde Ssembusi 40, akulira ebikwekweto mu kitongole kya poliisi ezikiza omuliro ekya Fire Brigade

Ssembusi bwe yatuukiriddwa yategeezezza nti Nantumbwe bw'aba alina kye yeemulugunya wa ddembe okugenda mu b'obuyinza okumuggulako omusango era n'agamba nti essaawa yonna ensonga zino zaakugenda mu kkooti kyokka nagaana okwogera ku nsonga y'okuleeta omukazi awaka.

Ssembusi alumiriza mukyala we okulagajjalira abaana b'agamba nti yabalekawo n'agenda okumala emyezi ena kyokka omukazi alumiriza nti Ssembusi ye yamusindikayo era abadde amuweereza obuyambi bwonna.

Nantumbwe alumiriza nti bba n'abooluganda lwe baamututte ku poliisi e Buwambo gye baamugguliddeko omusango ku fayiro nnamba SD. REF. 20/8/12/2020 ku by'okulagajjalira abaana n'okubba ebintu mu nju.

Nantumbwe naye yasazeewo aggule ku bba omusango gw'okumukuba ku fayiro 25/25/07/2020 e Kasangati oluvanyuma lwa poliisi y'e Buwambo okugaana okuggulawo omusango ku Ssembusi. 

POLIISI ERABUDDE ABASERIKALE

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango avumiridde eky'omuserikale okukuba mukyala we n'asaba Nantumbwe agende ku kitebe kya poliisi mu ofiisi y'amaka ensonga zikolweko.

Onyango alabudde abaserikale abakozesa ebifo byabwe okukuba bakazi baabwe nti bakikomye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....