TOP

Abalangira babasindise mu kkomera e Kitalya

Added 27th July 2020

ABALANGIRA ba Buganda babiri basindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya ku bigambibwa nti babadde basiga obukyayi mu bantu eri abakungu b’e Mmengo.

Jjuuko Kiyimba ne Kayima mu kaguli ku kkooti ya Buganda Road.

Jjuuko Kiyimba ne Kayima mu kaguli ku kkooti ya Buganda Road.

ABALANGIRA ba Buganda babiri basindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya ku bigambibwa nti babadde basiga obukyayi mu bantu eri abakungu b'e Mmengo.

Omulangira Richard Kayiwa, kkansala ku lukiiko lwa KCCA ne Joseph Jjuuko Kiyimba akola ogw'obubalirizi w'ebitabo nga mutuuze w'e Nsambya be baasindikiddwa mu kkomera bwe bagguddwaako emisango mukaaga nga gyonna gyekuusa ku kusiga bukyayi eri abakungu b'e Mmengo.

Kayiwa ne banne baavunaaniddwa mu kkooti ya Buganda Road mu maaso g'omulamuzi Stella Amabiris eyabasindise ku limanda okutuusa nga August 6, 2020.

Okusinziira ku mpaaba ya gavumenti, bano nga beeyambisa omukutu gwa Facebook baalumba David Kiwalabye Male eyali akulira Buganda Land Board (BLB) nga kati ye minisita w'ebyobuwangwa ne bamuyita omufere era omubbi w'ettaka n'ebyobulimba ebirala bingi.

Tebaakoma okwo baalumba ne Juma Bashir Kizito ne bamulumiriza okudobonkanya BLB n'okubba ssente eziri mu bukadde bwa doola ne bagattako ne Martin Kasekende ne bateeka n'ekifaananyi kye ku "Face Book" nga bamulumiriza okuba omubbi nga balabula abantu okumwewala okukolagana naye.

Oludda oluwaabi lugamba nti ebigambo bino eby'obukyayi byali biruubirirwamu okumalako Kiwalabye n'abalala emirembe n'okubonoonera amannya. Kigambibwa nti bano emisango baagidizza mu bifo ebyenjawulo mu Kampala wakati wa October 2019 ne June 2020.

Emisango gyonna baagyegaanyi ne bagezaako okusaba okweyimirira kyokka looya wa gavumenti Mariam Njuki n'asaba omulamuzi amuweeyo obudde.

Kayiwa ne munne Balangira abava mu lunyiriri lwa Ssekabaka Daudi Chwa bazze bakaayanira ettaka lye bagamba nti lyaweebwa jjajjaabwe Chwa ng'omuntu kyokka aba BLB ne balifuula ery'obwakaba.

ABALANGIRA ba Buganda
babiri basindikiddwa ku
limanda mu kkomera e
Kitalya ku bigambibwa nti
babadde basiga obukyayi
mu bantu eri abakungu b'e
Mmengo.
Omulangira Richard Kayiwa,
kkansala ku lukiiko lwa
KCCA ne Joseph Jjuuko Kiyimba
akola ogw'obubalirizi
w'ebitabo nga mutuuze w'e
Nsambya be baasindikiddwa
mu kkomera bwe bagguddwaako
emisango mukaaga
nga gyonna gyekuusa ku
kusiga bukyayi eri abakungu
b'e Mmengo.
Kayiwa ne banne baavunaaniddwa
mu kkooti ya
Buganda Road mu maaso
g'omulamuzi Stella Amabiris
eyabasindise ku limanda
okutuusa nga August
6, 2020. Okusinziira ku
mpaaba ya gavumenti, bano
nga beeyambisa omukutu
gwa Facebook baalumba
David Kiwalabye Male eyali
akulira Buganda Land Board
(BLB) nga kati ye minisita
w'ebyobuwangwa ne bamuyita
omufere era omubbi
w'ettaka n'ebyobulimba
ebirala bingi.
Tebaakoma okwo baalumba
ne Juma Bashir Kizito
ne bamulumiriza okudobonkanya
BLB n'okubba
ssente eziri mu bukadde bwa
doola ne bagattako ne Martin
Kasekende ne bateeka
n'ekifaananyi kye ku "Face
Book" nga bamulumiriza
okuba omubbi nga balabula
abantu okumwewala okukolagana
naye.
Oludda oluwaabi lugamba
nti ebigambo bino
eby'obukyayi byali biruubirirwamu
okumalako Kiwalabye
n'abalala emirembe
n'okubonoonera amannya.
Kigambibwa nti bano
emisango baagidizza mu bifo
ebyenjawulo mu Kampala
wakati wa October 2019 ne
June 2020. Emisango gyonna
baagyegaanyi ne bagezaako
okusaba okweyimirira
kyokka looya wa gavumenti
Mariam Njuki n'asaba omulamuzi
amuweeyo obudde.
Kayiwa ne munne Balangira
abava mu lunyiriri
lwa Ssekabaka Daudi Chwa
bazze bakaayanira ettaka
lye bagamba nti lyaweebwa
jjajjaabwe Chwa ng'omuntu
kyokka aba BLB ne balifuula
ery'obwakaba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...