TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayimbi bakoze pulaani ku kuyimbula Bizzonto ne Kiweewa

Abayimbi bakoze pulaani ku kuyimbula Bizzonto ne Kiweewa

Added 27th July 2020

ABAYIMBI, Bannakatemba ne bannamateeka ba bakazannyirizi abeeyita Bizzonto bakoze pulaani okulaba nga bayimbulwa. Mu pulaani eno mulimu n’entegeka gye baluse okukakasa nga n’omuyimbi Gerald Kiweewa eyayimba ku Nantaba ne Zaake naye ayimbulwa.

Abayimbi bakoze pulaani ku kuyimbula Bizzonto ne Kiweewa

Abayimbi bakoze pulaani ku kuyimbula Bizzonto ne Kiweewa





Kiweewa ye yasooka okukwatibwa ku Lwokuna ng'entabwe eva ku luyimba Nantaba mwe yassa ebigambo ebiraga nti abakuba Zaake bamulanga Nantaba.

Poliisi yannyonnyodde nti Kiweewa yamenya etteeka lya Computer Misuse Act (okukozesa obubi emikutu gy'empuliziganya) n'ekigendererwa eky'okukuma mu bantu omuliro. Baagattako nti mu luyimbaa yassaamu n'ebigambo ebyesittaza abantu.

Bannakatemba abali mu kibiina ekyatuumibwa Bizzonto baakwatibwa Lwakutaano nga babataayirizza ku leediyo Simba gye bakolera pulogulaamu ya Binsangawano.

Okukwatibwa kwabwe kwekuusa ku katambi poliisi k'erumiriza nti baakakola n'ekigendererwa eky'okusiga obukyayi bw'amawanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Mwebesa

Omuntu owa 5 afudde Corona

UGANDA efiiriddwa omuntu owookutaano, ekyongedde okweraliikiriza nti obulwadde bwa Corona bukyali bwa maanyi mu...

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...