TOP

Omuntu omulala afudde corona mu Uganda

Added 27th July 2020

UGANDA efunye omuntu owookubiri eyafudde corona nga waakayita ennaku ttaano ng’eyasoose afudde. Kigambibwa nti eyafudde mukyala wa myaka 80 ng’abadde mutuuze mu Kisenyi 111 e Mengo mu munisipaali y’e Lubaga.





Okusinziira ku ministule y'ebyobulamu, omukyala ono yasooka kutwalibwa mu ddwaaliro lya Platinum Hospital mu Kampala oluvannyuma n'asindikibwa mu ddwaaliro ly'e Mengo okufuna obujjanjabi obusingawo.

Omukyala ono kigambibwa nti yasooka kulaga bubonero bwa ssennyiga omukambwe okuli ekifuba, omusujja, okulumizibwa mu kifuba okukaluubirizibwa mu kussa.

Mu ddwaaliro yatwalibwayo nga July 24, era n'afa ku lunaku lwe lumu nga yaakatuusibwa mu ddwaliro e Mengo akawungeezi. Okwekebejjebwa okwakoleddwa okuva mu Uganda Virus Research Institute kwalaze nti omukazi ono yafudde Corona Virus.

Ono waafi iridde nga waakayita ennaku ntono ng'omuyambi w'abasawo mu ddwaaliro e Namisindwa yaakamala okufa Corona. Kati Uganda ewezezza abantu babiri abaakafa corona.

Abantu bano ababiri we bafi iridde nga Gavumenti yaakaddiriza ku muggalo gwe yassaawo olw'obulwadde buno bwe yagguddewo akeedi, saluuni n'okukkiriza boda boda okuddamu okusaabaza abantu olwaleero.

Mu kiseera kino Uganda ewezezza abalwadde 1,103 ng'abasinga ku bano bavuzi ba mmotoka ezeetikka ebyamaguzi okuva mu Kenya, Tanzania ne South Sudan.

UGANDA efunye omuntu
owookubiri eyafudde corona
nga waakayita ennaku ttaano
ng'eyasoose afudde.
Kigambibwa nti eyafudde
mukyala wa myaka
80 ng'abadde mutuuze mu
Kisenyi 111 e Mengo mu
munisipaali y'e Lubaga.
Okusinziira ku ministule
y'ebyobulamu, omukyala
ono yasooka kutwalibwa
mu ddwaaliro lya Platinum
Hospital mu Kampala oluvannyuma
n'asindikibwa mu
ddwaaliro ly'e Mengo okufuna
obujjanjabi obusingawo.
Omukyala ono kigambibwa
nti yasooka kulaga
bubonero bwa ssennyiga
omukambwe okuli ekifuba,
omusujja, okulumizibwa mu
kifuba okukaluubirizibwa mu
kussa.
Mu ddwaaliro yatwalibwayo
nga July 24, era n'afa
ku lunaku lwe lumu nga
yaakatuusibwa mu ddwaliro
e Mengo akawungeezi.
Okwekebejjebwa okwakoleddwa
okuva mu Uganda
Virus Research Institute
kwalaze nti omukazi ono
yafudde Corona Virus.
Ono waafi iridde nga
waakayita ennaku ntono
ng'omuyambi w'abasawo
mu ddwaaliro e Namisindwa
yaakamala okufa Corona.
Kati Uganda ewezezza abantu
babiri abaakafa corona.
Abantu bano ababiri
we bafi iridde nga Gavumenti
yaakaddiriza ku
muggalo gwe yassaawo
olw'obulwadde buno bwe
yagguddewo akeedi, saluuni
n'okukkiriza boda boda
okuddamu okusaabaza
abantu olwaleero.
Mu kiseera kino Uganda
ewezezza abalwadde 1,103
ng'abasinga ku bano bavuzi
ba mmotoka ezeetikka ebyamaguzi
okuva mu Kenya,
Tanzania ne South Sudan.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...

Bazadde ba Amos Ssegawa 15, okuli Hajarah Nakitto ne taata we omuto Meddie Ssemugenyi nga bannyonnyola ow’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Juliet Logose engeri gye baatemuddemu omwana waabwe.

Be battidde abantu baabwe m...

MAAMA w'omuyizi wa Lubiri SS- Buloba, Amos Ssegawa 15, eyakubiddwaa essasi ng'ayita mu kibuga wakati mu kwekalakaasa...